Compressor za firiigi bazitema sipeeya ne beeyoolera ssente

Mar 21, 2023

COMPRESSOR za firiigi n’eza Air Conditioner (AC) mu bizimbe kyekimu ku bintuebizibu okukanika nga kino kitegeeza nti eziba zonoonese zirina kuggyibwamu nemuzzibwamu endala.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Samuel Balagadde

COMPRESSOR za firiigi n’eza Air Conditioner (AC) mu bizimbe kyekimu ku bintu
ebizibu okukanika nga kino kitegeeza nti eziba zonoonese zirina kuggyibwamu ne
muzzibwamu endala.

Olw’obuyiiya bwa Bannayuganda, Compressor zino baatandise okuzisuubula ne baziguza eri abo abazitema ne baziggyamu eby’omunda nga Patrick Musinguzi ali mu
mulimu guno bw’annyonnyola.

Tuzigulira mu kkiro nga buli emu ya 2,000/- ng’ezo ezibeeera mu ffirigi entonotono
batera okuzituwa okuva ku kkiro ttaano.

Ate ennene omuli n’eza A C ziweza kkiro kkumi okudda waggulu.

Mu kuzisuubula tuzitema ne tuziggyamu ebintu eby’enjawulo okuli copper ono buli kkiro ya 18,000/-, Steel wa 1,500/- ate Cast iron wa 1,000/- buli kkiro.

Wadde copper asinga okubeera ow’ebbeeyi mu Compressor abantu batono abamugula
nga tulina okumunoonyeza ekatale.

Patrick Musinguzi yabibuulidde omusasi waffe. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});