Talawuya: Esswala ekuweesa empeera ezenkana okumala ekiro kiramba ng’osaala
Mar 28, 2023
ESSWALA ya Talawuya y’esswala esaalibwa mu mwezi gwa Ramadhan oluvannyuma lw’esswala ya Isha ng’eno esaalibwa nga ya 4, 8 oba okusingawo okweyongerako laaka endala emu oba ssatu eza witir.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Sumayiya Nakatta
ESSWALA ya Talawuya y’esswala esaalibwa mu mwezi gwa Ramadhan oluvannyuma lw’esswala ya Isha ng’eno esaalibwa nga ya 4, 8 oba okusingawo okweyongerako laaka endala emu oba ssatu eza witir.
Abasiraamu bangi bawangaalira mu bulamu nga basobya naye ekiseera kya Ramadhan bwe kituuka kabeera kadde ka kwenenya na kukola ebyo Allah by’alagira nga
akabonero akalaga obwetoowaze gy’ali.
Esswala eno y’emu ku sswala za sunna naye erimu empeera nnyingi. Esswala eno yali ya laaka 11 empanvu ku mulembe gwa Nabbi Muhammad (S.A.W) kyokka
nga zisobola okukendeerako oba okuwanvuwako okusinziira ku busobozi bw’oyo asaala.
Sheikh Mustafa Katende, Imaam wa Masjid Jamia e Kagoma ku Lukadde Road agamba
nti, mu kiseera kino nga tuli mu kisiibo Ramadhan, Omusiraamu asaana okusaala Talawuya wadde nga si ya tteeka naye erimu empeera nnyingi ddala eri oyo abeera agisiibye ng’eno esaalibwa buli kiro okuva omwezi lwe guboneka okutuuka lwe balangirira Eid.
ENJAWULO WAKATI W’ASAALIDDE AWAKA NE KU MUZIKITI
Omuntu singa asaala esswala mu muzikiti kibeera kitegeeza nti, agisalidde mu Jama (esswala ey’awamu) ng’eno ebeera n’empeera nnyingiko okusinga ku oyo agisaalidde mu maka ge.
Omuntu singa agisaalira mu jama afuna empeera 27 ate agisaalidde mu maka ge afuna empeera emu.
Abamu ku bantu bagayaala okugenda okusaalira esswala ya Talawuya mu Jama nga tebamanyi nti, bafi irwa empeera nnyingi.
Esswala eno esaalibwa bw’owummulamu ng’osaala laaka bbiri oba nnya nga
bw’otuulamu n’osaza salaama.
OMUNTU ATANDIKA DDI OKUSAALA ESSWALA ENO
Omusiraamu akubirizibwa okumujjukiza okusaala esswala ng’awezezza emyaka
7 kyokka abaana abatannaweza myaka egyo, tukubirizibwa okubaagazisa okusaala esswala eno kibayambe okugimanyiira nti ne bwe baliba bakuze, bajja
kuba bagisaala.
Abazadde si kirungi kuwa baana byakulya oba bo bennyini okulya ne babwegera mu biseera by’okusiibulukuka kuba omukkuto guleeta obugayaavu n’osubwa empeera
eziri mu kusaala talawuya.
EBIRUNGI BY’OKUSAALA ESSWALA YA TALAWUYA
Esswala ya talawuya nkulu kubanga erimu ebirungi bingi nga muno mulimu:
Omubaka Muhammad (S.A.W) yatukubiriza okusaala esswala eno kuba omuntu agisadde emabega wa imaamu n’agimalako, abalibwa ng’amazeeko ekiro kiramba
ng’asaala.
Allah akusonyiwa ebisobyo byo by’oba wakulembeza nga kw’otadde n’okukusonyiyira bazadde bo abaali abalongoofu.
Omuntu asaala talawuya afuna omukisa malayika ne zikusaalirako nga zeegayirira Allah akusonyiwe ebibeera bikusobyeko.
Asaala talawuya abeera nga asaalidde ku mizikiti egiri e Mecca ne Madina.
Allah akuteekerateekera ensi n’enkomerero ebirungi era otuuka mu maaso ge nga oli mulongoofu.
No Comment