Engeri okufumba ettaka gye kuyamba abalimira mu biyumba (green houses)
Mar 29, 2023
Okufumba ettaka kuyambako okutta obuwuka

NewVision Reporter
@NewVision
Dr. Pamella Bakkabulindi alimira mu biyumba (green houses) e Kabembe agamba nti omuntu yenna agenda okulimira mu kiyumba oba mu biveera weetaaga okufumba ettaka okutta obuwuka.
obulwaza ebirime obutambulira mu ttaka baddala kiwota kuba ebika ebirimirwa mu biyumba tebibeera na busobozi kugumira birwadde bino nga byetaaga okuyambibwako.
Engeri Ettaka Lino Gye Lifumbibwamu.
Ettaka lino lirina kuba liddugavu ng'osobola okulifuna wonna okuli ne kasasiro oba okudda mu lye wakozesezza olusimba oluwedde ssinga obeera watandika dda.
Osobola okulitabulamu nnakavundira nga obusa, kalimbwe n’ebirala olwo n'obifumbira wamu okukakasa nti buli kiritabulwamu tekiriimu buwuka buyinza kukosa birime.
Funa eppipa ogisseemu amayinja mu ntobo okutuuzibwa akatimba n’obutoli obutono ddala olwo ne bayiwamu amazzi nga tebannassaako ttaka.
Oluvannyuma ettaka liyiibwa ku katimba olwo ne batandika okufumba okutuusa ettaka lyonna lwe liyitamu omukka gwa mazzi nga kino kisobola okutwala essaawa nga ssatu okusinziira ku nku.
Abalala bafuna payipu ze basiba ku ppipa y’amazzi payipu ne zissibwa mu kibookisi nga zirimu obutuli. Ettaka erigenda okufumbibwa lissibwa mu bikoso ne libikka payipu olwo amazzi bwe gatandika okutokota omukka ne guva mu ppipa ne gufubutikira mu ttaka okutuuka lyonna lwe bibuna n’okwokya.
Oluvannyuma liyiibwa ku ttundubaali oba ekiveera okuwola nga terinnassibwa mu biveera okusimbibwa endokwa.
No Comment