Engeri gy'okozesa ettundubaali okulunda ebyennyanja
May 16, 2023
OKULUNDA ebyennyanja mulimu gw'osobola okukolera awaka ne bwe waba wafunda n’ofuna ssente ate ng’okugutandika teweetaaga kuba na ssente nnyingi.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Emmanuel Ssekaggo
OKULUNDA ebyennyanja mulimu gw'osobola okukolera awaka ne bwe waba wafunda n’ofuna ssente ate ng’okugutandika teweetaaga kuba na ssente nnyingi.
Olw’obuyiiya obw’enjawulo obuliwo, tokyetaaga kuliraana nnyanja oba kuba na bidiba mu kisenyi n’olyoka olunda ebyennyanja.
Kye weetaaga kwe kumanya engeri gy’olina okukolamu kino olwo n’onoonya ssente ezeetaagisa okutandika.
Mariam Kintu, omutuuze w'e Mpambire ekisangibwa mu muluka gw'e Konkoma mu Town Council y'e Mpigi, mulunzi wa byannyanja era ng’alunda kika kya mmale. Azirundira waka mu bidiba bibiri (2) bye yakola nga yeeyambisa amatundubaali n’amakooko.
Ku byennyanja ayongerako okulunda ebintu ebirala okuli; enkoko n’embuzi. Kuno agattako okulima enva endiirwa naddala sukumawiiki ezimuyamba okuliisa ebyennyanja bye naye okulyako n’ab'omu maka ge.
Mariam Kintu, munnakibiina ky’abalimi ekiri mu kitundu kye ekya Ndugu Bee Keepers and Poultry Group nga mu kibiina kino mwe yayita okukwatagana n’ekitongole kya Skills Oriented Development Initiative (SODI) ng’abakugu mu kitongole kino be baamuyigiriza engeri gy'olundamu ebyennyanja mu matundubaali era ne bamuwa ne ttanka mw’alembekera amazzi g’akozesa mu kulunda ebyennyanja.
Mariam Kintu Ng'afukirira Obutungulu Bwe.
ENGERI GY'OLUNDIRA EMMALE MU MATUNDUBAALI
Mariam Kintu, agamba nti, "Okuva obuto nga mmanyi nti, ebyennyanja bibeera mu bisenyi era nga mmanyi ne bwekuba kubirunda olina kufuna bidiba mu bisenyi.
Wabula bwe nagenda mu misomo egy’enjawulo aba SODI gye baategeka, baatulaga nti, tusobola okukozesa amatundubaali ne tulundiramu ebyennyanja.
Olw’okuba okuva obuto nali mbyagala, nateeka amaanyi mu kusomesebwa ne mmanya n’ebyetaagisa mu kulunda ebika by’ebyennyanja eby’enjawulo era oluvannyuma lw’okusomesebwa nasalawo ntandike okulunda emmale.
Abakugu batusomesa nti, tusobola okukozesa amatundubaali ne tulundiramu ebyennyanja eby’enjawulo omuli; engege n’emmale. Mu kuteekateeka ekifo w’ogenda okulundira ebyennyanja bino, okozesa obukugu n’ozimba ky’oyinza okuyita bbookisi mu bunene obw’enjawulo nga weeyambisa amakooko, olwo n’osibako ettundubaali mw’oyiwa amazzi mw’olundira ebyennyanja byo.
EMMALE NNYANGU OKULUNDA BWOGERAGERANYA KU BIRALA
lEmmale kye kimu ku byennyanja ebyangu okulunda naddala eri oyo omulunzi atandika. Emmale tezitera kulumbibwa ndwadde.
l Emmale nnyangu za kuliisa, mu kidiba ekirimu emmale 300, nteekamu kkiro y’emmere (pellet) emu olwo ne nnyongerezaako okubiriisa ebintu ebirala gamba nga ebikoola by’amayuuni, ebya sukumawiiki n’ebirala ekizifuula ennyangu okuliisa bw'ogerageranya n’ebika by’ebyennyanja ebirala.
lBw'oba w’ogenda okulundira wafunda, tekyandibadde kirungi n’olunda engege kubanga bwe zibeera nnyingi ate nga we zitambulira watono, zisobola okwefumita amaggwa ekizirwaza. Emmale zo tezisobola kwefumita ng’osobola okulunda eziwera ne bwekiba nti, w’olundira watonotono.
lEkirala ekirungi ku mmale kwekuba nti, zikula mangu, mu myezi mukaaga oba otandise okutunda, singa oba ozirabiridde bulungi emmale emu oba osobola okugitunda wakati wa 8,000/- ne 10,000/-.
lTosobola kulunda mmale n’obulwa akatale kubanga abantu bazettanira. Nze akatale kansanga waka wano era buli ayagala emmale mmuguza nga bw’azze. Ky’olina okwewala naddala ng’ebyennyanja obirundidde waka kwe kubulwa enva n’ovubayo kimu ne mulya, olwo bizinensi oba ogisudde.
lKikulu okulunda ebyennyanja ate nga bw’olima, amazzi g’olundiramu, jjukira olina okugakyusa, buli lw’ogakyusa oba olina okugayiwa mu birime eby’enjawulo. Gano gabaamu ebigimusa bingi ebiyamba ebirime byo okukula obulungi.
GAVUMENTI EYONGERE OKUTEEKAWO EMBEERA EYANGUYIZA ABALIMI OKUFUNA MU MULIMU GWABWE
Ekimu ku bisoomooza abantu gwe musolo oguli ku bikozesebwa mu kulima n’okulunda. Newankubadde okuwa omusolo kirungi, naye gavumenti singa egukendeezaako, n’ebintu ng’emmere y’ebisolo oba ey’ebyennyanja eba ejja kukka olwo abalimi beeyongere okuganyulwa.
Mu ngeri y'emu gavumenti tugisaba eyongere abalimisa mu bitundu kubanga oluusi wabaawo okusoomoozebwa omuntu kw’afuna nga yeetaaga omulimisa wabula oluusi n'atamufuna ekivaako oluusi okufiirizibwa.
No Comment