Jjajja w'abaana: Ebika by’eddagala 7 ebigoba oluwumu ku mubiri gwo
Jun 01, 2023
OLUWUMU terulina bulumi bwe lussa ku muntu, wabula lwe lumu ku ndwaddez’olususu olulabisa obubi omuntu, ate ng’alulina asobola okulusiiga abalala singabagabana ebikozesebwa omuli engoye, ebbaafu onunaabirwa n’okwoleza engoye, omubiri gw’oyo alulina singa gukwatagana n’ogw’omuntu omulala era lumukwatan’ebirala.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
OLUWUMU terulina bulumi bwe lussa ku muntu, wabula lwe lumu ku ndwadde
z’olususu olulabisa obubi omuntu, ate ng’alulina asobola okulusiiga abalala singa
bagabana ebikozesebwa omuli engoye, ebbaafu onunaabirwa n’okwoleza engoye, omubiri gw’oyo alulina singa gukwatagana n’ogw’omuntu omulala era lumukwata
n’ebirala.
Ekirungi osobola okululwanyisa n’olwevumulira ng’okozesa obutonde obukwetoolodde omuli emiddo, emiti n’ebintu ebirala.
l Mu kujjanjaba oluwumu, osobola okufuna ekisula n’okikoonakoona ne kigonda,
oluvannyuma n’okiyiwa mu mazzi g’otadde mu kintu ekitonotono mw’oteeka amazzi.
Amazzi gabeera matono, nga mw’ossa ekisula ekiwerako olwo n’otabula bulungi bw’omaliriza n’obikkako okutuusa enkeera.
Funa akagoye oba akawero akayonjo okannyike nga bwe weekuuba awali oluwumu.
l Akanzironziro oba ebikoola by’amatungulu oba ekibala ky’ettungulu kyennyini.
Bw’ofuna ku bino, okisekulamu ensaano n’ogissa mu bizigo bino ebyabulijjo by’okozesa n’otandika okwesiiganga okutuuka lw’ofunawo enjawulo.
l Wabula ebikoola by’ettungulu n’ekibala kyakwo singa kibeera kibaddeko osobola okubitokosa n’onywangako, era nawo bikuyamba.
l Osobola n’okufuna ebikanja by’omwenge omuganda n’obiyengeramu ebikoola
by’amatugulu obyesiigenga buli lw’omaliriza okunaaba.
l Akangwe akaganda nga kakyali kato nako kakuyamba ku luwumu. Ky’okola bw’okanogayo okagagambulako olukuta olw’okungulu n’okeeyisangako
ku mubiri awali oluwumu ng’omalirizza okunaaba.
Olunaanu olukavaamu oluleka ne lukukalirako n’olunaabako enkeera.
l Bw’okozesa ebyo n’olaba ng’oluwumu lukyakulemeddeko, noonya ekifuula, akatuntunu, mageregankoko, ebikoola by’ensugga, omucula, kafumbe, n’oluwoko obisekulire wamu osiigenga awali oluwumu ng’omalirizza okunaaba.
Ate ne bw’obeera toli mu mbeera esobola kwesiiga bikoola bino by’osekuliddewo nga bibisi, osobola okubikaza n’obisekulamu ensaano n’ogissa mu bizigo n’obyesiiganga buli lw’ova okunaaba ku makya n’olweggulo.
l Akajjampuni nako kalungi ku luwumu. Kano ko onoga bukoola bwako n’obuyenga neweesiiga awali oluwumu, ate nga nako osobola okukakolamu ensaano era n’ogissa mu bizigo ne weesiganga.
No Comment