Engeri omugga ow'ebyafaayo gye guloopa enkyukakyuka mu mbeera y'obudde
Aug 30, 2023
Omugga Katonga gumu ku migga egy’ebyafaayo wano mu ggwanga,

NewVision Reporter
@NewVision
Omugga Katonga gumu ku migga egy’ebyafaayo wano mu ggwanga, gugabirira ennyanja eziwera amazzi era n’abalunzi bagwettanira okunywesezaako ebisolo byabwe mu bitundu gye guyita.
Gwogerwako ng’omugga Luwanguza, anti entalo ezisinga kasita zisala Katonga ziba ziwedde, ng’abalwana balinda buwanguzi.
Katonga bw'afaanana ng'omulabidde waggulu.
Omugga guno guzze gubooga emirundi egiwera, ne gucankalanya ebyentambula ku luguudo lw’e Masaka naddala mu biseera by’ennaku enkulu, naye ekisembye okubaawo gwe mugga guno okusala mu May/June w’omwaka guno ne gwabuluzaamu olutindo lwa Katonga nga tekyali kidduka kiyitawo, na kati obumotoka obutono bwokka bwe bukkirizibwa okuyita ku mugga guno kuba gukyakolebwa.
Ku luguudo lw’e Masaka, gusangibwa ku kyalo Jjandira mu muluka gw’e Jandira, Ggombolola y’e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi, wano we gusaliramu ku luguudo lw’e Masaka, wabula gugendera ddala ne guyita mu disitulikiti eziwerako okuli; Kalungu, Butambala, Gomba okutuukira ddala e Toro gye gugambibwa okuba nti, gye gusibuka.
Ahmed Kateregga Musaazi.
Ahmed Kateregga Musaazi, amyuka RCC w’e Masaka, avunaanyizibwa ku bitundu bya Kabonera ne Kimanya mu kibuga Masaka agamba nti, abasima omusenyu mu Lwera be bamu ku baleetera omugga guno obuzibu, agamba nti:
Omugga Katonga nga emigga emirala, waliwo lwe guddiriramu katono ku mazzi kuba nagwo era gugabirirwa emigga emirala, naye mu byafaayo tegukalirangako, gumu ku migga egirina amazzi amangi era ogwettanirwa abalunzi okunywesa ebisolo byabwe.
Abali ku mulimmu gw'okuzzaawo Katonga.
Omugga gusibuka mu bitundu by’e Tooro eyo mu nsozi za Rwenzori, era ab’e Tooro bagamba nti, guno y’ensibuko y’omugga Kiyira. Katonga bw’ava e Tooro, ayita e Mubende n’akola ensalo wakati w’Amasaza Mawogola ne Buweekula (Ssembabule ne Mubende), n’oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Kasese lugoba mugga guno.
Bwe guva e Toro guva mu buvanjuba, bwe gutuuka e Nkonge guweta ne gutunula mu Bukiikaddyo ne gukola ensalo wakati w’Amasaza Gomba ne Mawogola, ate bwe gutuuka e Kisozi mu Gomba ne gukola ensalo wakati w’Amasaza Buddu ne Gomba.
Bwe gutambula ne gutuuka mu maaso eyo, ate ne gukola ensalo wakati w’Amasaza Buddu ne Mawokota. Omugga gwokka oguva ku nnyanja Nalubaale y’e Kiyira, egisigadde okuli ne Katonga giyiwako buyiyi. Ebiseera byonna Katonga y’ensalo ya Buganda ne Bunyoro ku ludda lwa Buddu.
Egimu ku mikutu gye bataddemu okulimiramu omuceere.
Katonga azze ajjula n’abooga emirundi egiwerako, n’asalako oluguudo lw’e Masaka oludda e Mbarara ebyentambula ne bisannyalala, nga ne ku mulundi guno mu mwezi gwa June, 2023 gwazzeemu okukola ekintu kye kimu era oluguudo lw’e Masaka lukyali mu kuddaabirizibwa terunnaggwa kuddamu kutambuza bulungi bidduka.
Mu mitendera gy’okukola omugga guno, amazzi gatuuka ne gaggwaamu, wabula abamanyi Katonga bagamba nti, omugga guno tegukalirangako, era okuba ng’amazzi gaali gakalidde, kyandiba nga waliwo ekyakolebwa abali ku mulimu gw’okukola oluguudo, basobole okukola obulungi.
Kateregga ayongerako nti,okumanya Katonga takalira, n’abagagga eyo mu nkoola abalunzi b’ente, batera okuzitwala ku mugga Katonga mu biseera by’ekyeya okunywa amazzi kuba gwo ne ku kyeya tegukaliza.
Ssentebe Ssejjemba.
EBINYIIZA KATONGA
Mu Katonga mulimu ebyennyanja okuli; Ensonzi, Emmale, Emmamba ey’omuttosi nga by’ebyennyanja ebisinga okuva mu mugga guno.
Jamil Kiyingi, District Natural Resource O cer Kyotera District, Secretary Katonga River Catchment Committee agamba nti: Omugga Katonga embalama zaagwo bazirimye, ebisenyi byagwo nga Lwera okuviira ddala waggulu e Mubende byonooneddwa awamu n’ebyalo ebiguliraanye.
Ebibira, ebisenyi bisaanyiziddwaawo ne balimiramu n’okuzimbamu amakolero ne bizinensi z’okusima omusenyu.
Ebintu bino bikola nga ekyangwe, bye byakwatanga amazzi ne galema kudduka ku misinde gya waggulu, ne gadduka mpolampola okutuuka ku nnyanja omugga gye gugaba, naye olw’okwonoonebwa, kati gadduka nnyo ekivaako
omugga guno oluusi okwabya entindo.
Ebimu ku bitooke bye balimiramu.
Bw’otunuulira olutindo lwe Bugomola oluva e Kalungu okutuuka e Kabulassoke, mwateekebwamu ebigoma nga bitono, ku ngulu ne bateekako ettaka, olw’okuba kati amazzi gadduka nnyo tekyali kigakwata, gaabalula omulundi gumu olutindo ne luta ne gongera sipiidi, ne galumba Katonga naye n’abimba naye n’abalula n’ayuza olutindo.
Bw’ocankalanya obutonde bw’ensi okosa okuva waggulu ppaka wansi, ebibira babiggyeewo ate basimba miti gya payini na kalittunsi egitali gya butonde mu kitundu.
No Comment