Ennyonta bulwadde: By’olina okukola ng’ekulemeddeko
Oct 20, 2023
ENNYONTA kabonero omubiri gwe kakozesa okukubagulizaako nti amazzi gakendedde mu mubiri gwo.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Musasi Waffe
ENNYONTA kabonero omubiri gwe kakozesa okukubagulizaako nti amazzi gakendedde mu mubiri gwo.
Felisita Nakasiita, omukugu mu by’endiisa okuva mu Nsambya Hospital agamba nti oyinza okulumwa ennyonta ng’otuuyanye nnyo, ng’oli mu musana, mu kifo ekyokya, ng’okola emirimu egy’amaayi oba ng’okukola dduyiro ow’amaanyi.
Kyokka ennyonta bw’ekuluma nga ne bw’onywa amazzi tewona, kandiba akabonero okooleka obulwadde naddala ng’omubiri gukaze, tolina musaayi oba ng’olina obulwadde bwa sukaali.
Obujjanjabi obusookerwako ng’ennyonta ekuluma;
Ekisooka mu byonna olina kunywa mazzi. Oyinza okuywa amazzi okutuusa bw’owulira
ng’ennyonta ewonye.
Mu ngeri yeemu, osobola okunywa ku by’okunywa ebirala nga omubisi gw’ebibala oba caayi.
Okubaako ky’onywa ng’ennyonta ekuluma kiyamba okuzza amazzi mu mubiru.
Ennyonta bw’ekulemerako, genda olabe omusawo akwekebejje, kuba obulwadde obukuviirako okulumwa ennyonta obusinga busobola okujjanjabibwa n’otereera
No Comment