Eddagala erisookeerwako ng'olidde emmere n'efuuka obutwa mu lubuto
Oct 25, 2023
WALI olidde ekintu olubuto ne lwecanga?

NewVision Reporter
@NewVision
WALI olidde ekintu olubuto ne lwecanga? Ako nno kabonero akalaga nti ekyokulya ky’otadde mu lubuto kibadde kyonoonese oba nga kibaddemu obuwuka naddala obuva ku bucaafu.
Kino kiyinza okubaawo ssinga ebyokulya ebyo bibadde biterekebwa bubi oba nga biterekeddwa okumala ebbanga ddene ne byonooneka.
Felisita Nakasiita, omukugu mu byendiisa mu ddwaaliro e Nsambya agamba nti oluusi olubuto luyinza okukuluma ssinga olyankuzibwa, okulya ennyo, oba okulya ng’otabiikiriza ebika by’emmere ebingi omulundi ogumu.
Mu mbeera eno oyinza okutandika okulumwa olubuto, okusinduukirirwa emmeeme, okusesema, okuddukana oluusi oyinza n’okutandika okwokerera n’ofuna omusujja. Omuntu ali mu mbeera eno, sooka weebake wansi owummulemu.
Bw’oba osesema oba ng’olina embiro, nywa ku mazzi agabuguma kuba kiyamba okusaabulula obutwa n’okuwagira omubiri okufulumya obutwa obwo n’okuzzaawo amazzi agaba gafulumye mu mubiri ekiziyiza amazzi okukuggwa mu mubiri.
No Comment