Engeri Uganda gy’esobola okufuna mu mmere ennansi

Nov 06, 2023

EMMERE ennansi kimu ku bintu Uganda by’esobola okufunamu ssente singa ebeera eteekeddwateekeddwa bulungi n’okussibwamu enkola ennambulukufu okuyamba abalimi n’abalunzi.

NewVision Reporter
@NewVision

EMMERE ennansi kimu ku bintu Uganda by’esobola okufunamu ssente singa ebeera eteekeddwateekeddwa bulungi n’okussibwamu enkola ennambulukufu okuyamba abalimi n’abalunzi.

Paul Mwambu, kaminsona mu minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi agamba nti, ekirwadde kya COVID-19 kyaggula abantu bangi amaaso okutandika okulya mu ngeri ebakuuma nga balamu bulungi nga kino kitegeeza kulya mmere etaliimu butwa ng’ennansi bw’eri, era Uganda limu ku mawanga agasinga okulima n’okufulumya emmere eno mu Africa kyokka nga tekimanyiddwa olw’obutabeera na nkola nnuηηamu.

Ebiwandiiko bya minisitule y’ebyenfuna, okuteekerateekera eggwanga n’ebyenfuna obulimi n’obulunzi ebyesigamye ku butonde biyingiza kuno ebitundu 17 ku 100 ebya ssente eziyingizibwa okuva mu kutunda ebyamaguzi by’obulimi n’obulunzi ebiri ku bukadde bwa ddoola 291 n’emitwalo 20 (eza kuno, tuliriyooni emu n’obuwumbi 76 n’obukadde 700).

Akatale k’emmere eno mu nsi yonna kasuubirwa okwongera okukula okutuuka ku bukadde bwa ddoola 484 (eza kuno akawumbi ka tuliriyoni emu, obuwumbi 790 n’obukadde 800) omwaka 2030 we gunaatuukira ate kasigale nga kakulira ku bitundu 11 ku 100 buli mwaka.

EMIKISA MU MMERE ENNANSI

Dr. Grace Nambatya, akulira ekitongole ekinoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi mu Uganda wansi wa minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga agamba nti, Uganda erina emikisa ntoko egitannaba kukwatibwako egifumbekedde mu mmere ennansi.

“Emmere ennansi erimu ebiriisa omubiri bye gwetaaga okukuuma omuntu nga mulamu bulungi, nga bino ebirime bibifuna kuva mu butonde kuba erimibwa mu ngeri eyeesigamye ku butonde awatali kukozesa ddagala lya butwa,” bw’agamba.

Bwe yabadde ku mwoleso gw’emmere ennansi ku Hotel Africana, yategeezezza nti, emmere ennansi n’abalimi baayo bakyalina emikisa mingi nga singa wassibwawo enteekateeka ennuηηamu egobererwaokuva mu nnimiro, entambuza, amaterekero okutuuka ku kugatta omutindo abalimi n’eggwanga baakuganyulwa nnyo.

Abalimi n’ebibiina by’abalimi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo baayolesezza ebika by’emmere n’enfumba ez’enjawulo mu buwangwa bwabwe nga bannyonnyola emigaso omuntu gy’afuna mu kulya emmere eyo.

“Ennaku zino tukizudde ng’abantu abakwatibwa ebirwadde nga kookolo, obugumba, enkula y’abaana n’ebirala birina akakwate n’eddagala erifuuyirwa ku mmere n’erikubwa ensolo n’ebinyonyi kuba bangi ku balikozesa tebagoberera biragiro biriwandiikibwako ebirambika enkozesa yaalyo entuufu,” bw’agamba.

Eddagala lireeta okukyukakyuka mu butonde nga y’ensonga lwaki buli luvannyuma lw’ebbanga omuntu abeera alina okukozesa eddagala erisinga ku ly’abadde akozesa
amaanyi kuba n’obuwuka bubeera bwongedde okuguma ng’eribaddewo terikyabukolako.

Ng’oggyeeko enkozesa, mu Uganda mukyalimu abakozesa eddagala eryagaanibwa mu mawanga ag’ebweru emyaka 30 egiyise ate ne balikozesa mu bungi obususse.

Omuntu agenda okulya emmere, ennyama, amata oba amagi ng’ayingiza butwa bwereere.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});