Ebintu 9 by'olina okusooka okutunuulira nga tonnagula ttaka

Nov 26, 2023

Ensonga y'okufuna ettaka mu Uganda efuuse ensonga ey‘omutawaana ennyo olw'abafere abajjudde eggwanga nga bafeze abantu okwagala okubamalawo obumazi.

NewVision Reporter
@NewVision

Ensonga y'okufuna ettaka mu Uganda efuuse ensonga ey‘omutawaana ennyo olw'abafere abajjudde eggwanga nga bafeze abantu okwagala okubamalawo obumazi.

Eno y’emu ku nsonga enkulu ezaavuddeko kkampuni ya Vision Group okutegeka omwoleso gwa Homes and Constructions omwaka guno e Kololo.

Abamu ku baabadde mu musomo gw'ebyettaka nga bawuliriza.

Abamu ku baabadde mu musomo gw'ebyettaka nga bawuliriza.

Munnamateeka  Paul Mukiibi okuva ku Law Development Centre akubuulira ebimu ku ebyo by’osaanye okussaako amaanyi ng’ogula ettaka okwewala okuferebwa ;

-Sooka omanye obwannannyini ku ttaka ly'oyagala okugula era kino okimanya osoose kulaba ku ndagaano oba ekyapa ky'ettaka ly’oyagala okugula.

-Omuntu bw’aba atunda ettaka lye yasikira obusikizi , mugambe akulage ekikakasa mu buwandiike nti ky’ayogerako mazima .

-Buuliriza ku baliraanye ettaka ly’oyagala okugula wamu n'abakulembeze ab'ekitundu oba ddala ettaka eryo litundibwa mu bulambulukufu.

 

-Ettaka bwe liba lya kyapa tuukirira ku ofiisi y'ebyettaka okakase oba ekyapa kituufu kuba ebiwandiiko bibaayo mu tterekero mu kkompyuta era bakuwa ‘search letter .’

-Genda ne nnannyini ttaka mu ofiisi y'ettaka okakase oba ekyapa kikyupule oba kyaddala mukakase obutuufu bwakyo .

-Funa omupunta alyerule empenda  okusobola okumanya oba ettaka liwera nga bwe lisoma ku kyapa.

-Funa puliida akuyambeko okukola endagaano.

-Bw’oba osobola kirungi n’osasulira mu baanka omuntu n’otamuwa nsimbi mu buliwo kubanga ssente ezo nnyangu zaakwegaana ekitali ku ezo ze wasasulira mu bbbanka.

-Bw’oba tonnasasula ssente zaakugula ttaka,  kirungi n'osooka ossaawo ku mbeera ekanga gamba nga okuyiwa ttipa y'omusenyu oba bbulooka okulaba oba waliwo alikaayanira era ssinga tewaba avaayo olwo osobola okusasula.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});