Ow'emyaka 9 ayitimuse mu kufumba kkeeki n'okwolesa emisono

Nov 27, 2023

Omwana ow’ekitone alina okuyambibwako okulaba nga kikula, ssinga okigayaalirira kikona, omwana n’atakifunamu.

NewVision Reporter
@NewVision

Omwana ow’ekitone alina okuyambibwako okulaba nga kikula, ssinga okigayaalirira kikona, omwana n’atakifunamu. Ekitone ky’omwana okirabira ku bwagazi bw’aba nabwo eri ekintu era n’atandika mpolampola okukikola.

Kyokka era omwana asobola okufuna obwagazi mu mulimu muzadde we gw’akola. Wano omuzadde osobola okuyamba omwana ono n’ayiga okukola omulimu ogwo kubanga enkola eno eyambye ffamire nnyingi okuyimirizaawo emirimu gyazo.

Nayiga Era Ayolesa N'emisono Gy'engoye.

Nayiga Era Ayolesa N'emisono Gy'engoye.

Precious Joelyn ML Nayiga, ow'emyaka 9 era ng’omwaka guno abadde asoma P4 ku ssomero lya Tiber International School erisangibwa e Bwebajja ku luguudo lw'e Ntebe, alina ebitone eby’enjawulo okuli; okuzina amazina ag’enjawulo, okwolesa emisono, okukola eby’okwewunda n’ebitone ebirala. Kyokka ekyongera okumufuula ow’enjawulo kwe kuba ng’asobola okukola kkeeki ez’omulembe.

Olw’obuyiiya bwe ate n’ebitone ebingi by’alina, y’omu ku baana abavuganya ku bwannalulungi bw’abaana abato ezimanyiddwa nga 'Little Miss Uganda' ez’omwaka guno.

Nayiga agamba nti: Katonda yampa ebitone bingi era nga byonna nfuba okulaba nga mbikulaakulanya. Ekirungi bazadde bange bannyamba okulaba nga buli kimu nkikola bulungi.

Ekimu ku bitone ebinfudde ow’enjawulo kwe kuba nga nsobola okukola kkeekei eziri ku mutindo. Obwagazi bw’okukola kkeeki nabufunira ku maama wange kubanga naye azikola.

Natandika okumwetegereza mpolampola ne ng’enda nga mmanya ebirungo by’akozesa. Bwe yalaba nga njagala nnyo okuyiga naye n’atandika okunjigiriza.

Ne ku ssomero bwe tuba tusoma naddala okukola kkeeki, nze nkulira abaana abazisoma era mpulira essanyu buli lwe nnyambako mu kusomesa bannange nabo okuyiga okukola kkeeki.

Okukola kkeeki kunnyambye okubeera omwegendereza mu byonna bye nkola ate n’okugoberera ebiragiro. Mu kufumba kkeeki ssinga obaako ekipimo ky’osobyamu, kkeeki tesobola kuwooma.

Mu ngeri y'emu era okukola kkeeki kunnyambye okufuna obukugu obukozesa ssente. Bwe nkula, bwe siibeere musawo, njakubeera yinginiya.

 

Kyokka ate nga njagala n’okubeera omwolesi w’emisono ow’amaanyi mu nsi yonna nga ntambula mu nsi ez’enjawulo naddala nga njolesa ennyambala entuufu eri abantu. Nkakasa ng’okwolesa emisono nja kusobola okukola wamu n’ekyo kye nnaaba nsomye.

Sophie Lubega, nga ye maama wa Nayiga agamba nti: “Abazadde tulina okukola ennyo okulaba nga tutumbula ebitone bya baana baffe newankubadde ng’oluusi bikalubamu naddala mu kubagulira ebyetaagisa, okugeza engoye ez’okwolesezaamu ate n’eng’endo ez’enjawulo.

Kyokka tulina okukozesa obusobozi bwaffe tutumbule ebitone bya baana baffe kubanga omwana bw’ayolesa obulungi n’abamukwatako basobola okumulaba ne bamuyambako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});