Ebintu 6 by'olina okwegendereza ng'otambulira mu mmotoka mu nnaku enkulu

Nga tuli mu kwetegekera ennaku enkulu entambula ya ssekinnoomu n’eya lukale kwe kusoomooza okutunuuliddwa mu kiseera kino.

Ebintu 6 by'olina okwegendereza ng'otambulira mu mmotoka mu nnaku enkulu
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Emboozi #Nnaku nkulu #Kutambula #Kwegendereza #Mmotoka

Nga tuli mu kwetegekera ennaku enkulu entambula ya ssekinnoomu n’eya lukale kwe kusoomooza okutunuuliddwa mu kiseera kino.

Muno muzingiramu abo abagula mmotoka ssaako n'abo abaludde nazo abalina okuzitambuza okugenda mu byalo oba mu bibuga.

Ttakisi Ng'eyonoonese Mu Maaso Olw'akabenje

Ttakisi Ng'eyonoonese Mu Maaso Olw'akabenje

Obungi bw’abo abeeyambisa entambula ya lukale nga be basinga obungi nabo batandise okweyongera. Paul Kwamusi nga mukugu mu ntambula y’ebidduka alambika ku kiki ekirina okukolebwa. 

1Omutindo gwa mmotoka : Kwamusi agamba nti mmotoka gyoteekakasa oba gye waakagula wabula nga nkadde tewandigivuze lugendo luwanvu.

2 Okwewala okutambula ekiro kuba enguudo nnyingi ziwomoggose olw’enkuba etonnya.

3 Omusaabaze yandyewaze okulinnya mmotoka zo ku makubo kuba mubaamu ez’ababbi ate nga n’abazivuga obukugu bwabwe tebamanyiddwa .

4 Omusaabaze yandyewaze okulinnya takisi oba bbaasi etikkiddwa ekisukkiridde.

5 Abasaabaze balina eddembe okugaana okuvugibwa endiima oba ddereeva yenna gwe beekengedde oba ayinza okubeera omutamiivu.

6 Atambula teyandirize ssaawa esembayo kuba ebaamu akasattiro