OKUKUBA endobo mmotoka ku kaserengeto n’ekigendererwa ky’okukekkereza amafuta kivaako ‘Timing belt’ okwonooneka amangu. Julius Muwanga, makanika omukugu e Mulago annyonnyola:
Omuze guno gusinga mu bavuga mmotoka ezikola bizinensi okuli bbaasi, loole, ttakisi ssaako n’abavuga ez’obwannannyini nga balowooza bakekkereza mafuta. Bangi kye batamanyi nti omuze guno guvaako olukoba lwa ‘Timing belt’ okukutuka amangu.
Ggiya y'emmotoka ng'eri mu neutral.
Ekyewuunyisa, ne bamakanika bangi abakola ekintu kino era bw’obabuuza, bakuddamu kimu nti, “nkekkereza mafuta.” Kino kisinga kukolebwa ku mmotoka eza automatic (ezeeteekamu oba ezeekyusa zokka ggiya).
Omugaso gwa ‘N’ (Neutral ) mu mmotoka si kukuba ndobo wabula kwawula ‘D’ (Drive) ne ‘R’ (Livansi) olw’abantu abamu abavuga nga balina ebirowoozo ng’essaawa yonna asobola okukola ensobi ng’ali mu ‘R’ ate n’ateeka mu ‘D’, wano ‘N’ w’eyambira.
Mmotoka bw’eba mu ‘D’ (drive) n’ogiteeka mu ‘N’ (Neutral) ng’eserengeta ekendeezaako amafuta matono ku g’enywa olw’okuba yingini eba tezikidde, kale oba tolina nnyo ky’okekkerezza. Okukuba endobo mu mmotoka za ‘Manual’ tekirina buzibu kuba ddereeva y’aba agitegeerera.
Sso nga mu ya ‘Automatic’, kibeera kyabulabe era kiyinza n’okuvaako okukola akabenje singa oteeka mu ‘N’ ne weerabira nti, mw’oli ng’ate oyagala kuyisa. Ogenda okujjukira okuteeka mu ‘D’ (Drive) mmotoka ekuli emabega eyinza okukukooona.
Singa mmotoka ebeera mu sipiidi 100 ng’eri mu ndobo kitegeeza bw’oba ogenda kudda mu D (Drive), oba olina okusooka okusiba n’ogitandikira mu ggiiya 1,2,3. Kino batono abakigoberera kuba bw’ogiteeka mu D ng’ekyali ku misinde oba okanga yingini n’okwonoona ggiya bokisi.
Ensonga endala lwaki tolina kukozesa ‘N’, oyinza okuba mu kalippagaano k’ebidduka n’ogiteeka mu ‘N’, mmotoka bwe zisimbula oyinza okwerabira n’oteeka mu Livansi (R) n’okoona mmotoka ekuli emabega.
Kyandibadde kirungi mmotoka n’ogiteeka mu ‘P’ (paakingi) ne bw’oba mu jjaamu. Mmotoka ng’eri mu ‘N’, eba esiba kitono ng’era kino kivuddeko baddereeva bangi okukola obubenje.
Okwemanyiiza okukuba endobo kinafuya ggiya bookisi. Eyandibadde ekola emyaka 6 n’ekola 3. Oyinza okuteeka mu ‘N’ n’okuba endobo bw’otuuka okuteeka mu ‘D’ (drive) n’oteeka mu R (Livansi), kino mmotoka kivaako okumeketa ebyuma n’ekuba ggiya bookisi.
Mmotoka za ‘Automatic’ empya si kirungi kuzikuba ndobo, w’okolera ensobi eba egenda kucankalanya sisitiimu y’amasannyalaze. Ensonga endala ab’ebidduka gye balina okugoberera ye ggiya ya ‘L’ ne ‘2’ mu mmotoka za ‘Automatic’, abamu tebamanyi mugaso gwazo.
Zino ziyamba mu kaseerezi. Bw’oziteekamu mmotoka eggumira ku ttaka n’esobola okutambula kasita eba nga tetudde, singa obeera mu sipiidi 100 ne weekanga ekkoona, osobola okuteeka mu ‘L’ oba ‘2’ mmotoka n’esala sipiidi.
Singa oteekamu ggiya ‘L’ oba ‘2’ nga si kaseerezi mmotoka eba edduka emisindi mingi naye eba ekunywa amafuta kuba ezo ggiya za maanyi nnyo.
Noolwekyo kirungi nnyo okwegendereza ng’okozesa ggiya n’oteeyonoonera mmotoka yo.