Obulabe obuli mu kukyusakyusa ebika bya mafuta by’okozesa mu mmotoka yo

Jan 02, 2024

ABAGOBA b’ebidduka bangi naddala ab’emmotoka bamanyi obutafaayo ku mmotoka zaabwe n’oluusi ne badda mu kucangacanga amafuta

NewVision Reporter
@NewVision

Baddereeva bangi naddala ab’emmotoka bamanyi obutafaayo ku mmotoka zaabwe n’oluusi ne badda mu kucangacanga amafuta nga tebamanyi nti kino kisobola okuvaako okwonooneka kw’emmotoka.

Yasin Lusiba, makanika w’emmotoka ku Agaati Auto Garage e Luzira agamba nti, emmotoka yonna nga tennaba kuggyibwa mu kibanda, omuntu agigula asaanye amanye ku ssundiro lya kika ki ery’amafuta ly’agenda okugimanyiiza.

Yasin Lusiba Ng’alaga Akasengejja Amafuta Bwe Kafaanana (ku Kkono), Ate Ku Ddyo, Ye Ppampu Ekuba N’etambuza Amafuta.

Yasin Lusiba Ng’alaga Akasengejja Amafuta Bwe Kafaanana (ku Kkono), Ate Ku Ddyo, Ye Ppampu Ekuba N’etambuza Amafuta.

Oluusi osanga abantu abamu kino tebakifuddeeko so ng’ate omuntu gy’akoma okukigayaalirira kyonoona mmotoka.

Kyandibadde kya buvunaanyizibwa okulondako ekika kimu oba okusooka okunoonyereza ku ebyo ebika ebikolagana wadde si bye bimu n’akozesa ebyo kubanga waliwo kkampuni ezimu ng’amafuta gaazo gakwatagana. 

Kyokka kino si kya kuteebereza buteebereza wabula kirina kusooka kukolwako kunoonyereza nga tonnatabika bika by’amafuta bino.

Lusiba agamba nti, oluusi emmotoka zimanyi okusikira ku kkubo olwo abagoba baazo ne basalawo okunywa amafuta ku kkampuni endala ezaawukana ku ezo ze banywako bulijjo.

 Kino bwe kiba nga kikoleddwa bwa lumu mu ngeri ya kwetaasa, tekitera kubeera na buzibu nnyo okuggyako singa obeera okyusiriza buli kadde nga w’osanga w’onywa kibeera kya bulabe.

Buli lw’omala gakyusakyusa obeera obuzaabuza sisitiimu y’amafuta kubanga okuva lwe gava mu ttanka okutuuka gye gatambulira mu yingini yonna wajjudde masannyalaze.

Buli ebyuma bino lwe bisoma amafuta nga buli lunaku ga kika kirala, ebyuma bitandika okwecanga ne bifa.

Mu ttanka mubeeramu ekiyitibwa ppampu y’amafuta oba ggeegi y’amafuta nga eno buli lw’esika ebika by’amafuta ebikyukakyuka buli kadde etuuka ekiseera n’ekuba.

Mu ttanka, ppampu eno mw’etuula era mulimu n’akasengejja nga kano ke kasengejja amafuta. Waliwo ebika by’amafuta ebimu nga bibeera bicaafu newankubadde nga kizibu okugalaba n’amaaso. 

Kyokka buli kasengejja lwe kasengejja ennyo amafuta amacaafu, kireetera ppampu okukwata n’ezibikira nga tekyasobola kutwala mafuta gye galina kugenda.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});