By'osaanye okukola okwewala siteeringi y'emmotoka yo okukaluba

Feb 20, 2024

Ppampu eriko olukoba olutambuza ‘hydraulic’ okutuuka mu siteeringi nga ppampu y’emukuba okumutuusaayo ekigisobozesa okugonda olwo omuvuzi n’ayanguyirwa okuvuga awatali kukaluba kwonna.

NewVision Reporter
@NewVision

BADDEREEVA bangi bagayaalirira emmotoka zaabwe nga ne bwe ziba zoonoonese tebafaayo kulondoola buzibu buno we buvudde. Okugeza bangi bakaaba steeringi okukaluba ng’erumya n’ekifuba kyokka nga bakoma kwebuuza lwaki ekaluba.

Paul Walusimbi, makanika ku galagi ya Green lanes e Mulago annyonnyola ebivaako siteeringi okukaluba, omuvuzi yenna by’alina okugenderera kubanga byandimuviiramu akabasa.

Makanika Ng'atereeza Siteeringi.

Makanika Ng'atereeza Siteeringi.


Agamba nti, emmotoka zirina siteeringi za bika bibiri okuli; ez’amasannyalaze n’ezikozesa ‘Hydraulic’ ez’enkoba ezivugibwa amannyo ga yingini.

Ate Meddie Kayizzi, makanika ku galagi ya MK Motor Garage e Kyebando annyonnyola nti, ebika bya siteeringi ez’amasannyalaze ensangi zino bifulumira nnyo mu mmotoka empya.

Ate ezo ezikozesa woyiro wa ‘hydraulic’ ziri nnyo mu mmotoka enkadde nga Ipsum, Raum n’endala. Bano bannyonnyola ebimu ku bivaako siteeringi y’emmotoka ekozesa ‘hydraulic’ okukaluba:
l Ppampu y’emmotoka ezikozesa ‘hydraulic’ bw’efa ne bw’onyoola siteeringi owulira ng’erimu ekintu ekikaaba nga buli ludda lw’ogizzaako okiwulira, awo siteeringi ebaako obuzibu.

Ppampu eriko olukoba olutambuza ‘hydraulic’ okutuuka mu siteeringi nga ppampu y’emukuba okumutuusaayo ekigisobozesa okugonda olwo omuvuzi n’ayanguyirwa okuvuga awatali kukaluba kwonna.

l Olukoba lwa ‘hydraulic pump’ okukutuka: Olukoba luno luyambako ppampu ya ‘hydraulic’ okwetooloola bw’eba ekuba.

By’okola okwewala siteeringi okukaluba woyiro wa ‘hydraulic’ okumutwala mu kakono ka siteeringi. Singa olukoba lukutuka oba okulagaya, siteeringi efuna obuzibu.

l Ebiseke ebitambuza woyiro wa ‘hydraulic’ bwe biba bitonnya: Woyiro ono bw’akubibwa ‘hydraulic pump’ n’adda mu biseke ebimutambuza okutuuka mu kakono ka siteeringi (steering rack) okumutuusa mu steeringi, ebiseke bwe biba bitonnya era aba tasobola kutuuka mu siteeringi ekigireetera okukaluba.

l Akakono ka siteeringi okutonnya: Akakono ka siteeringi ke kagatta ku siteeringi kwennyini okufuna woyiro wa ‘hydraulic’ wabula Kayizzi annyonnyola nti, ppampu ne bw’eba nnamu ng’akakono ka siteeringi ke katonnya, era woyiro wa ‘hydraulic’ ayiika n’aggwaamu ekikalubya siteeringi.

l Abavuzi abamu bakozesa ‘hydraulic’ omucaafu: Nga buli lw’omuteeka mu siteeringi agenda Kayizzi ng’alaga akakono ka siteeringi. munda eyo n’azibikira ebiseke ebitambuza woyiro wa ‘hydraulic’ ekivaako siteeringi okukaluba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});