Enkozesa y'ekinazi ekuyamba okusala omugejjo, okukola olususu n'okuwagala obwongo yiino
Jul 27, 2024
Dr. Joseph Mawula owa Novel Biotech Ltd, akolera mu Kampala agamba nti, ekinazi kirina amasavu amalungi era kiyamba mu kukuuma ebitundu by’omubiri eby’omunda

NewVision Reporter
@NewVision
EKINAZI kibala ekirina omugaso ku bulamu bw’omuntu nga kikozesebwa mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo. Omuti gw’ekinazi mu lulimu Olungereza gumanyiddwa nga ‘coconut tree’, ate bannassaayansi baguyita ‘cocos nucifera’ nga guva mu f famire ya ‘Palm tree’ mu ssaayansi eyitibwa ‘Arecaceae’.
Ekinazi nga bwe kifaanana ku muti.
Ekibala ekiva ku muti guno kiyitibwa ekinazi era kijjudde ebirungo ebikozesebwa mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo omuli; ekiriisa ekizimba omubiri, ekiwa amaanyi, ebiwuziwuzi, amasavu amalungi, manganese, Copper, selenium, phosphorus, ekirungo ekiyamba mu kukola omusaayi, potassium, medium chain triglycerides.
Dr. Joseph Mawula owa Novel Biotech Ltd, akolera mu Kampala agamba nti, ekinazi kirina amasavu amalungi era kiyamba mu kukuuma ebitundu by’omubiri eby’omunda okuli; ensigo, ekibumba, omutima n’ebirala nga biramu bulungi era nga kiyamba ne mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo
a) Okwejjanjaba endwadde ez’enjawulo zonna ezoogeddwaako okuli amabwa mu lubuto n’ez’ekikaba, kozesa akajiiko ka woyiro w’ekinazi omuteeke mu mazzi agookya onywe emirundi esatu olunaku okumala ennaku 20 oba 30 okusinziira ku kulung'amizibwa kw’omusawo.
Ekinazi Bwe Kifaanana Munda Nga Kiyasiddwa
b) Bw’oba osobodde okufuna ensigo y’ekinazi, nywa amazzi agasangibwamu kuba gakola ky’ekimu mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo.
c) Osobola okulya ekimere ekyeru ekisangibwa mu nsigo, nakyo kiyamba mu kusala omugejjo n’okusa emmere mu lubuto.
d) Okunyiriza enviiri n’olususu, weesiige woyiro ate mu nviiri naabamu ssabbuuni w’ennazi era osiigemu woyiro waayo ng’ono osobola n’okumugattamu amatondo ga woyiro wa Rosemary n’osiiga mu mutwe okumala eddakiika 30 oluvannyuma n’onaabamu. Okikola okumala ennaku 10.
e) Bw’oba oyagala kwesiiga ku lususu luleme kukaddiwa, woyiro mugatte mu kibala eky’ensaali olye oba mwesiige butereevu.
f) Okwejjanjaba ebibuno n’amannyo mukozese wiiki nnamba ng’otonnyeza amatondo asatu mu kamwa ng’ogalekamu okumala eddakiika 20 okutuusa lw’owona.
No Comment