Ziizino ensonga 3 lwaki olina okuzikiza mmotoka yo ng'onywa amafuta ku ssundiro

Nov 27, 2024

AMATEEKA agafuga ebidduka ebiba bigenda okunywa amafuta ku masundiro gali nti ddereeva alina okusooka okuzikiza yingini ate ne mmotoka okusigala nga teriimu muntu. 

NewVision Reporter
@NewVision

AMATEEKA agafuga ebidduka ebiba bigenda okunywa amafuta ku masundiro gali nti ddereeva alina okusooka okuzikiza yingini ate ne mmotoka okusigala nga teriimu muntu. 

Emirundi mingi amateeka gano tegagobererwa. Fred Sentumbwe, addukanya essundiro ly’amafuta agamba nti ddereeva obutazikiza mmotoka kya bulabe nti ssinga wabaawo obuzibu kyangu okukwata omuliro.

 

Buli yingini lw’eba etokota ebaako amasannyalaze g’omuliro g’emansula. Gano oluusi gayinza okuvaako omuliro.

Okuzikiza yingini kiyamba okutaasa mmotoka singa eba eteekeddwaamu ekika ky’amafuta ekitali kyayo.

Engeri gy’eba tevuuma era amafuta gaba tegatambula kukosa bitundu bya mmotoka birala. Mmotoka efunye obuzibu nga buno esindikibwa n’essibwa ku lunnya amafuta amakyamu ne gaggyibwamu ne ttanka n’eyozebwa olwo ne bassaamu amatuufu.

Bwe muba wabweru wa mmotoka kyangu okumanya amafuta ge bakuteeramu era omanya nti assaamu amafuta amalirizza nga n’ekisaanikira akizzizzaako olwo n’osimbula bulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});