ABA bodaboda basanyukidde nnamba za pikipiki eza Digito ezaatandise okufuluma eri ezo eziyingizibwa mu ggwanga omulundi ogusooka.
Bagamba nti, kibawadde essuubi ly’okukwata ezo ezinaaba zibbiddwa nga bayita mu kuzirondoola nga Gavumenti bwe yasuubiza.
Frank Mawejje, Ssentebe w’abavuzi ba bodaboda mu Kampala, yagambye nti, essuubi ly’okukwata pikipiki enzibe libali mu nnamba za digito kuba ekidduka ne nnamba puleeti yaakyo kussibwako obuuma obulondoola buli kifo mwe kibeera.
Wabula yagambye nti, omulamwa gwa nnamba zino baakwongera okugutegeera singa wanaabaawo pikipiki ezibbiddwa ne zikwatibwa.
Suzan Kataike, omwogezi wa minisitule y’ebyemirimu n’entambula yagambye nti, okutandika okukola ku nnamba za mmotoka eza digito kwatandise n’ezo ezaakayingizibwa mu ggwanga okutandika ne Mmande ya wiiki ewedde.
Kino kitegeeza nti, tewakyali kukubisa nnamba puleeti ezibaddewo enkadde era nga kkampuni ezibadde zizikola okuli Anold Brolklyn wane ne Tumpeco zaawereddwa omwezi gumu okuba nga zimaze okugaba nnamba ze baafulumya eri bannannyini zo.