Engeri amadirisa n'enzigi gye bigoba ebbugumu awaka mu sizoni eno
Mar 02, 2025
Enzigi n'amadirisa fuba okulaba ng'obiggula ofune empewo awaka

NewVision Reporter
@NewVision
Yinginiya Vincent Katende agamba nti mu kiseera kino kirungi okuggulawo enzigi n’amadirisa mu biseera by’emisana.
Obudde bwe buziba ne bwoggaliwo ebbugumu libeera terikyali lingi.
Ebintu nga kateni n’amasuuka mu nnyumba bisobola okuba nga nabyo byongera ku buzibu. Bwe bibeera nga bibadde mu langi enzikivu, kye kiseera okubikyusa ogule ebya langi enjeru ojja kulabawo enjawulo.
Kendeeza okukozesa ennyo ebintu ebyongera ebbugumu mu nnyumba okugeza ppaasi, ebifumba oba ebyuma ebikaza engoye. Bwe kiba kisoboka engoye zaanike wabweru era bwobeera n’ekifo w’osobola okufumbira wabweru kikole.
Bwoba ng’obadde okyeyambisa balubu enkola enkadde kye kiseera okutandika okukozesa eza LED lights ezitafulumya nnyo bugumu. Mu mbeera eno ennyumba tebeeramu nnyo bbugumu mu budde bw’ekiro.
Katende agamba abakola enzigi n’amadirisa balina okukakasa nga bataddeko ‘ventilators’ eziyisa empewo. N’abazimba amayumba baddemu okulowooza ku ky’okussa obumooli ku nnyumba.
Okweyambisa tayiro mu nnyumba nakyo kiyambako kuba zirina engeri gye zireetamu obunnyogovu mu nnyumba ebbugumu ne likendeera. Eyazimba edda naawe okyasobola okusimamu seminti n’oziteekamu.
No Comment