Engeri gy'olabiriramu pikipiki ya masannyalaze n'ogiwangaaza
Mar 11, 2025
Buli lukya tekinologiya mu bintu era mu mbeera eno mwe baleetedde pikipiki z’amasannyalaze.

NewVision Reporter
@NewVision
Buli lukya tekinologiya mu bintu era mu mbeera eno mwe baleetedde pikipiki z’amasannyalaze.
Zino zigendereddwa okutaasa obutonde bw’ensi n’okukekkereza nga zeeyambisa muliro gwa bbaatule mu kifo ky’amafuta.
Kkampuni ezitunda pikipiki z’amasannyalaze ssente zizikola mu kuteeka muliro ku bbaatule (charging) okuva ku 8,000/- okudda waggulu. Bbaatule ejjudde obulungi ebalirirwa okukutambuza kiromita nga 100 omuliro ne guggwaako olwo n’ogizzaayo ne bakuwaamu endala ejjudde.
Tekinologiya ayingiziddwaawo owa pikipiki zino bakuweerako charger ng’okujjula obulungi kikwetaagisa essaawa nnya. Pikipiki zino zikoleddwa nga ziriko ne bbaatule eya sipeeya mu nkola y’okwerinda naddala singa oba ogenze mu kifo omutali masannyalaze.
Moses Kayiira, owa Kayiira Motors Ltd yagambye nti nga bakolaganira wamu ne kkampuni ya Green Motors okuva e China, batandise okufulumya pikipiki ezirina charger okugondeza ku bakasitoma baabwe.
Victor Getenya, akulira ebya pikipiki z’amasannyalaze ku Watu Uganda agamba nti zikekkereza ebitundu 40 ku100 bw’ozigeraageranya ku z’amafuta.
1. Kayiira agamba nti okuwangaaza bbaatule kyetaaga okugiwa obudde ku muliro n’ejjula bulungi okutuuka ku 100%.
2. Bbaatule tewandigirinze kuggwaako muliro (okutuuka ku 0%) kuba bino byonna bikendeeza obuwangaazi bwayo.
3. Weewale okuvugira mu ggiya ennene (nnamba 1 ne 2) okumala ekiseera ekinene kuba kino kimalako mangu omuliro ku
bbaatule.
4. Omukka mu mipiira gulina okukuumibwa nga mweguli kuba kikola kinene ku ntambula yaayo n’okukuuma omuliro ku bbaatule.
5. Weewale okutikka obuzito obusukkiridde ate nga n’okutikka akabindo kimenya amateeka g’oku nguudo era kikosa n’obuwangaazi bw’omuliro ku bbaatule.
No Comment