Biibino ebyonoona enzigi za ttakisi by'olina okwerinda

NG’OGGYEEKO ekizibu kya yingini ne ggiyabbookisi ku mmotoka za takisi, oluggi olwekulula omuyita abasaabaze lukwata ekifo kya ku mwanjo mw’ebyo ebisumbuwa mmotoka zino.

Biibino ebyonoona enzigi za ttakisi by'olina okwerinda
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Emboozi #Ttakisi #mwanjo #mmotoka

NG’OGGYEEKO ekizibu kya yingini ne ggiyabbookisi ku mmotoka za takisi, oluggi olwekulula omuyita abasaabaze lukwata ekifo kya ku mwanjo mw’ebyo ebisumbuwa mmotoka zino.

Ezimu ziba tezeggala kubunira, endala bakondakita bagenda bazikwatiridde ate oluusi zigaana okweggula abasaabaze ne bakonkomalira munda nga waliwo n’ezo ezibuukako nga mmotoka etambula.

 

Emmanuel Aleti, owa poliisi eyeekebejja ebidduka eya Inspector of Motor Vehicles (IOV) e Naguru mu Kampala agamba nti kya bulabe eri obulamu bw’abasaabaze oluggi lwa takisi okuba nga terweggula mangu kubanga mmotoka bw’efuna ekizibu mulemwa okufuluma okutaasa obulamu.

Obuzibu businga kuva ku bannannyini mmotoka obutaziddaabiriza bulungi n’endabirira embi. Moses Mugerwa, omuvuzi wa takisi agamba nti obuzibu obusinga naddala takisi za Kigege nnyingi zikaddiye ng’amabaati okuyita enzigi ganafuye.

Wabula enzigi zino zeetaaga nzidaabiriza n’endabirira ennungi. Ekisinga okuzinafuya bwe bucaafu omuli enfuufu n’ettaka ebiyingira okutambulira bbeeringi ezitambuza enzigi. Ekirala, ekizoonoona kwe kutikka abantu abangi oba
emigumu okuliraana oluggi ne lwewaga nga terukyasobola kweggula n’okweggala obulungi.

Enkwata y’oluggi enkyamu evaako okwonooneka. Mulimu abatalina bakondakita nga bakozesa basaabaze abamala gazikwata nga bwe baagala ne zoonooneka. Singa ofaayo okugenderera ebyo, oluggi terujja kukutawaanya era ojja kuluwangaaza.