Engeri ekigimusa gye kiyambye Kabuye okulimira mu kyeya n'afunamu

Mar 24, 2025

ETTAKA eddamu lye lisobola okuwa abantu emmere entuufu eyeetaagibwa mu mibiri gyabwe etakoma ku kubakkusa kwokka wabula ng’ebatangira n’endwadde.

NewVision Reporter
@NewVision

ETTAKA eddamu lye lisobola okuwa abantu emmere entuufu eyeetaagibwa mu mibiri gyabwe etakoma ku kubakkusa kwokka wabula ng’ebatangira n’endwadde.

Kyokka ettaka okusobola okuvaamu emmere ennungi, lirina okuba nga teriteekeddwaamu ddagala oba ebigimusa eby’obutwa kubanga bisaanyaawo obulamu bwe libeera nalyo omuli n’okutta obuwuka obw’omugaso.

Samuel Kabuye, Ng’alaga Ekigimusa Ekiyidde Ekibulako Okuteeka Mu Macupa.

Samuel Kabuye, Ng’alaga Ekigimusa Ekiyidde Ekibulako Okuteeka Mu Macupa.

Kyokka essuubi abalimi lye balina okuba nalyo kwekuba nti, ne bw’oba nga wali okozesezzaako ebigimusa oba eddagala ery’obutwa mu ttaka lyo, singa okyusa leero n’odda kw’eryo eritayonoona butonde, ettaka lyo lisobola bulungi okuddamu obulamu era ne liwa ensi emmere ennamu.

Amagezi gano abalimi gabawereddwa Samuel Kabuye, omutuuze ku kyalo Kizigo ekisangibwa mu divizoni y’e Najjembe mu disitulikiti y’e Buikwe.

Samuel Kabuye Ng’alaga Ekigimusa Kya Kf99 Ky’akola.

Samuel Kabuye Ng’alaga Ekigimusa Kya Kf99 Ky’akola.

Kabuye mulimi mu nnima ey’obutonde mugundiivu era ng’akola ebintu eby’enjawulo ebyongera okunyweza ennima eno mu ggwanga ate n’okugisomesa abalala. Kabuye agamba nti: 

Newankubadde tubadde mu kiseera kya musana era ebirime by’abantu bangi gamba ng’emmwaanyi n’ebitooke biyisiddwa bubi nga n’ebimu bikaze, bw’otuuka ku byange ogamba nti, sibadde mu kyeya.

Emmwaanyi zange nga kw’ossa n’ebitooke birabika bulungi era ng’omusana tegulina kye gubikozeeko.

Kyokka sikomye ku kuganyulwa mu mmwaanyi na bitooke byokka, wabula ekigimusa kino kinnyambye nnyo ne ku birime ebirala omuli kasooli, ebijanjaalo, soya n’ebirala era mu kiseera kino birabika bulungi ddala.

Mu kiseera kino kasooli wange anaatera okuleeta oluyange kyokka nga simufukirira. Mmuteekako buteesi kigimusa kino kye nkola ekya KF99 n’asobola okukula obulungi omusana ne bweguba gwase gutya.

Kabuye Ng’afuuyira Ekigimusa Kya Kf99 Ku Mmwaanyi Ne Kasooli.

Kabuye Ng’afuuyira Ekigimusa Kya Kf99 Ku Mmwaanyi Ne Kasooli.

Okusoomoozebwa we kuli kwekuba nti, mu biseera eby’omusana ekigimusa kigenda kingi mu nnimiro okusinga mu biseera eby’enkuba. Okugeza obudde bwe buba bwa nkuba, liita emu etabula liita 80 ez’amazzi ate bwe buba bwa musana, liita y’ekigimusa kino osobola okugitabuza liita 40 oba z’oyinza okuyita ebbomba bbiri eza liita 20.

Ekigimusa kino ku birime kifuuyirwako bufuuyirwa era ng’olina okuleka ng’ekirime kinnyikidde okusobola okukolera obulungi.

Tekisosola birime byonna era kikola ku biwangaazi omuli; ebitooke, emmwaanyi, kkooko n’ebirala ate n’ebya sizoni gamba ng’ebijanjaalo, kasooli, ennyaanya, ensujju n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});