JjAMBULA kibala abantu kye balya okutwaliriza ku budde, era bangi balowooza aliibwa baana bato, naye ng’alimu ebirungo bingi okuli; zinc, iron ne Vitamiini C, n’ebyo ebiyamba okulwanyisa obutwa obuyinza okutta obusimu bw’omubiri ne buvaako endwadde nga ez’omutima, kookolo n’endala nga bino byonna bya mugaso eri omusajja.
Omukugu mu kukola eddagala ery’ekinnansi Dr. Francis Omujala okuva mu Natural Chemotherapeutics Research Institute (NCRI) agamba nti, singa omusajja yettanira jjambula afuna ebirungo ebiyamba okukuuma enkwaso nga ziri ku mutindo.
Ayamba okukuuma omuwaatwa omuyita omusulo nga guli mu mbeera nnungi awatali kulumbibwa yinfekisoni yonna.
Jjambula alina ekirungo kya ‘iron’ ekiyamba okunuuma obutwa mu mubiri gw’omusajja ne gubeera mulamu bulungi okukola obuvunaanyizibwa bwe.
Ayamba okwongera ku bungi bw’amasavu mu mubiri n’okutambuza bulungi omusaayi okutuuka ku buli kitundu ky’omubiri gw’omusajja n’asobola okuguma n’okuwangaala mu kisaawe.
Jjambula ayamba okwongera n’okulinnyisa obwagazi.
Olw’ebirungo ‘iron’, Vitamini C, n’ebiwuziwuzi ebiri mu jjambula, omusajja bw’amulya afuna amaanyi ge yeetaaga okukozesa.