Lwaki olina okukuuma yingini buleeeki nga nnamu

YINGINI buleeki kabeera kuuma akakolagana ne yingini nga kagiyambako okukola obulungi emirimu gyayo naddala mu kusiba emmotoka n’okuwanga olusozi.

Lwaki olina okukuuma yingini buleeeki nga nnamu
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Emboozi #Nnamu #Bbuleeki #Yingini

YINGINI buleeki kabeera kuuma akakolagana ne yingini nga kagiyambako okukola obulungi emirimu gyayo naddala mu kusiba emmotoka n’okuwanga olusozi.

Abas Nsubuga, makanika ku SG Garage e Luzira agamba nti yingini buleeki abamu gye bayita puleesa pampu, ebeera ku yingini z’ebimotoka ebinene okugeza Fuso, Foward ne bbaasi n’emmotoka endala ennene nga kasangibwa wakati wa ggiya bokisi ne propera shaft nga n’oluusi kabeera mu magulu okuliraana ddiifu.

 

Omugaso gwako gwa kuyamba yingini okugisobozesa okukola ekyo ky’ebeera eragiddwa. Ssinga omugoba w’emmooka atuuka mu mbeera nga alina ky’agenda okulagira emmotoka ekole, kibeera kirungi n’asooka n’anyiga ku kapeesa ka yingini buleeki ne kateekateeka bulungi yingini okugisobozesa okukola ky’eragiddwa.

Singa onyiga yingini buleeki, bw’osiba emmotoka esibirawo nga tekutawaanyizza era ne bw’ogiragira kuwanga lusozi ekikola n’amaanyi.

Kyokka omugoba w’emmotka alina okubeera omwegendereza ng’akozesa yingini buleeki kubanga bw’eba efudde yingini evaamu eddoboozi erikutegeeza nti waliwo ekikyamu.

Emmotoka nga teriiko yingini buleeki, yingini esobola okusigala nga ekola naye nga tekola bulungi nga bweyandibadde.