Obulabe bw’okuvugira mmotoka mu ‘Neutral'

OBUSEERE bw’amafuta buli lukya bwongera okuteeka ab’ebidduka ku bunkenke era okukkakkana nga basaze amagezi ag’enjawulo okulaba nga emmotoka zikozesa amafuta matono, wabula enkola ezimu za bulabe ku kidduka.

Obulabe bw’okuvugira mmotoka mu ‘Neutral'
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Emboozi #Global Auto services #Neutral

OBUSEERE bw’amafuta buli lukya bwongera okuteeka ab’ebidduka ku bunkenke era okukkakkana nga basaze amagezi ag’enjawulo okulaba nga emmotoka zikozesa amafuta matono, wabula enkola ezimu za bulabe ku kidduka.

Abantu abamu basalawo okuzireka awaka nga bazeeyambisa bbalirirwe ate ku nsonga ez’amaanyi, abalala bazireka ku makubo ne balinnya takisi oba bodaboda okubatuusa gye bakolera nga batya okuziyingiza ekibuga olwa jjaamu atwala amafuta.

Ddereeva Mu Mmotoka.

Ddereeva Mu Mmotoka.

Baddereeva abasinga bwe babeera mu kalippagano kye basooka okulowoozaako kwe kuzikiza mmotoka ate abalala naddala abavuga mmotoka za Automatic kwe kukyusa ggiya ne badda mu Neutral (N) nga basuubira nti, wano mmotoka eba tenywa mafuta.

Richard Batte, nga mukugu mu bya mmotoka mu ggalagi ya Global Auto services agamba nti, okuvugira ekidduka nga kiri mu Neutral (N) kya bulabe eri ggiya bokisi singa okikola buli kiseera.

Agamba nti, okuvugira mu (N) naddala ku kaserengeto kutwala amafuta mangi okusinga ng’ogirese mu ggiya wabula nga tolinnye ku muliro naddala ku mmotoka ezikozesa ‘injector pumps’.

Ggiya Ya Neutral Bw'efaanana.

Ggiya Ya Neutral Bw'efaanana.

Agamba nti, buli mmotoka bw’evugibwa mu neutral (N) ddereeva kyangu kya kukola nsobi singa wabaawo obwangu obwetaagisa okusenvula.

Ayongerako nti, ggiya bokisi za mmotoka ezimu za ntondo nga kino bw’okikola buli kiseera zoonooneka. Okusiba (brake) kwa mmotoka eteri mu ggiya kukendeera amaanyi kuba yingini eba asaliddwaako ku maanyi ga mmotoka wadde ng’esigala etokota