Kw'olabira pulaaga ezoonoonese

PULAAGA ekola kinene ku kwakisa emmotoka kuba ze zisindika amasannyalaze mu kifo amafuta we gookerwa okusobozesa yingini okutokota. 

Kw'olabira pulaaga ezoonoonese
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#EMboozi #Agafa ku bidduka #Kwonooneka #Mboozi

PULAAGA ekola kinene ku kwakisa emmotoka kuba ze zisindika amasannyalaze mu kifo amafuta we gookerwa okusobozesa yingini okutokota. 

Dickson Batte, makanika mu Kisenyi agamba nti, pulaaga zirimu ebika eby’enjawulo nga zisibibwa ku sirinda yingini.

Zaawukana mu bungi okusinziira ku bunene bwa yingini. Mmotoka entono nga Toyota Duet, Toyota Passo n’endala ziba za sirinda ssatu nga kitegeeza zikozesa pulaaga ssatu. Wabula mmotoka za buyonjo ezisinga okuva ku CC 2,000 okutuuka ku CC 2,400 ziba za sirinda nnya ne pulaaga nnya.

 

Mmotoka ezisinga okuva ku CC 2,500 n’okutuuka nga ku 4,000 ziba za sirinda mukaaga ne pulaaga mukaaga. Mmotoka za yingini eza CC okuva nga ku 4,200 okudda waggulu ziba za sirinda munaana ne pulaaga munaana.

Pulaaga zaawuka mu bika ssaako omutindo era nga kino ky’ekivaako bbeeyi yaazo okwawukana. Waliwo pulaaga ez’olulimi olumu nga luliko akayiso ssaako ezo ezitaliiko kayiso. Waliwo ezirina ennimi ebbiri nga ziriko akayiso ssaako n’ezo ezitaliiko.

Waliwo ezirina ennimi ssatu nga zino tezibaako kayiso.

KW’OLABIRA PULAAGA ENFU
Pulaaga bwe zoonooneka mmotoka ekendeera amaanyi oluusi n’okulemererwa okwaka.

Pulaaga ezitandiikiriza okufa zivaako yingini okupipira n’okufulunya omukka omuddugavu.  Kino kiva ku kuba nti, ziba zinafuye nga tezisobola kwokya mafuta bulungi.

Pulaga emu bw’efa ebuutikira n’endala zonna okutuusa ng’ekyusiddwa oba okugirongoosa.