OMUSENYU kye kimu ku bizimbisibwa ebiteewalika ng’ozimba, kyokka bannannyini nnyumba batono abamanyi ebigukwatako ekiwa omukisa abazimbi abatali beesigwa okukola bye baagala.
Omusenyu gwa bika bya njawulo nga waliwo ogw’ennyanja ogubeera ogw’empeke ennene era bwe gutabulwa ne seminti gukola ekintu ekigumu ennyo.
Omukozi Ng'atikka Omusenyu Ku Forward
Wabula Khalid Mutumba omusuubuzi w’omusenyu agamba nti omusenyu ogw’ennyanja gulinamu ebika. Waliwo ogufaanana langi eya kyenvu nga baagukazaako Buwaya. Waliwo omweru ogumanyiddwa ennyo nga ‘Lwera’, waliwo n’ogubeera n’empeke ennene gwe bayita omuvube.
Oguyitibwa ogw’omugga abasinga baagukazaako gwa pulasita ogutabeera gwa mpeke nnene. Gutera okugattibwa n’ogw’ennyanja okwewala okuyiikayiika nga bazimba.
Enkozesa y'omusenyu
Yinginiya Fredrick Ssekibuule owa SSEKI-BUILDERS Co. agamba nti omusenyu gw’ennyanja gwe gusinga okukola emirimu emingi nga bazimba kubanga gubeera mugumu nnyo nga bagugasse ne sseminti. Gukozesebwa mu kuzimba amatoffaali, okuyiwa enkokoto, okuyiwa siraabu, okusiba amayinja mu luggya n’ebirala.
Omusenyu gw’omugga gukozesebwa mu kukola dizayini ku nnyumba naddala ng’ewedde. Era gukozesebwa n’okusiba tayiro.
“Omusenyu guno tugukozesa okukuba ebimuli ku nnyumba n’okukola dizayini ez’enjawulo ku nnyumba kubanga tegususumala, wabula bwe tubeera tuzimba omusenyu guno tugugatta n’ogw’ennyanja kubanga gwo gubeera n’enkwaso eguyamba okwekwata ekiziyiza okuyiikayiika nga tuzimba,” Ssekibuule bwe yagambye.
Ennyumba bw’eba ekyali mu musingi omusenyu ogw’omugga gukozesebwa nga gutabuddwaamu ogw’ennyanja kubanga guyambako okukwata amazzi obutambuka bisenge bya nnyumba.
Abantu abamu bakozesa omusenyu gw’omugga okukuba pulasita naddala nga baagala okukekkereza seminti, wabula omusenyu guno tegubeera mugumu nga ogw’ennyanja era tegusaana kukozesebwa gwokka.