Engeri y’okwewala seminti w’ebicupuli atundibwa
Mar 29, 2025
OMUZE gw’okucupula seminti gweyongedde ekireetedde abebyokwerinda okukola ebikwekweto mwe baakwatidde abantu musanvu n’ensawo za seminti omucupule 380 e Tororo mu ggombolola y’e Osukuru.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUZE gw’okucupula seminti gweyongedde ekireetedde abebyokwerinda okukola ebikwekweto mwe baakwatidde abantu musanvu n’ensawo za seminti omucupule 380 e Tororo mu ggombolola y’e Osukuru.
Akulira bambega ba poliisi mu kitundu kya Elgon, Milton Birungi yagambye nti ensawo za seminti ow’ebicupuli zaabaddeko obubonero obutali butuufu obwa kkampuni za seminti eza Tororo ne Simba.
Seminti Omucupule Eyakwatiddwa.
Kino we kijjidde nga waliwo obweraliikirivu olw’ebizimbe ebitera okugwa nga kigambibwa nti bakozesa seminti atali ku mutindo. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu ebya UNBS kizze kikola okunoonyereza ne kizuula nga seminti mungi atabulwamu ebintu ebirala.
Deus Mubangizi omukungu wa UNBS yategeezezza Bukedde nti seminti omu atabulwamu ebintu nga evvu n’ebbumba bye bateeka mu nsawo za seminti era nga y’emu ku nsonga lwaki ebizimbe ebimu bigwa.
Yagambye nti ekizibu kye kimu kye basanze ne ku Vim gwe batabulamu obuwunga. Kye bakola Vim gwe basoosa kungulu era omuntu oluwunyako owulira ebintu ebiringa Vim ng’ogula.
Ekizibu kino agamba kiri mu nsi yonna gyekiri era kiviirako amakampuni mangi okufiirizibwa.
Mubangizi yawadde Bannayuganda amagezi okugula seminti yekka gwe balabako akabonero ka UNBS kuba kitegeeza nti babeera bamaze okumwekenneenya nti atuukana n’omutindo. Bandyagadde okulondoola seminti yenna atundibwa mu katale naye tebalina busobozi bwa ssente.
Abagula ebizimbisibwa era basabiddwa okwettanira ebifo by’amatundiro bye beekakasa. Si kirungi kumala gagula buli wantu olw’okuba bya layisi kuba bikyayinza okubeera ebyobuseere mudda.
Akulira bakitunzi mu Simba Cement, Heet Raval, yasabye Gavumenti eyongere amaanyi mu nkola ya Electronic Digital Stamps kuba ebadde ekoze bulungi kuba ekoze kinene okuziyiza ebicupuli bya seminti okuyingira mu ggwanga.
Raval yalabudde abantu okwewala okumala gagula seminti buli we basanze wabula bagule mu maduuka agamanyiddwa obulungi.
Fred Boogere omuzimbi ng’alina ne Hardware e Nansana agamba ekimu ku bye basinze okwettanira kwe kutunda ebintu ebitawera n’ebitatuukana na mutindo nga kino kiri nnyo ku batunda seminti, n’ebyuma ebikola enzigi n’amadirisa.
Boogere agamba abantu ba bulijjo kirungi okweyambisa abakugu mu by’okuzimba nga bagula ebintu ebimu kuba si byangu bya kwawula ng’obitunuulidde n’amaaso gokka.
Ying. Fred Jjuuko owa Jjuuko Constructions Uganda Ltd agamba kisaana okwewala omuzimbi okukutegeerera n’okukumatiza okugula ku muntu omu kubanga emirundi egisinga obungi bano babeera n’ekkobaane ly’okukubba.
Jjuuko awadde abantu amagezi g’okwenyigira mu kugula ebintu byabwe n’okukola okunoonyereza mu bifo eby’enjawulo okumanya emiwendo bwe giyimiridde. Abalina sayiti ennene balina okuyiga okutambuza seminti n’omusenyu nga bitabuddwa lumu mu mixer olw’okwewala obubbi bwa seminti n’okumutabikamu ebintu kuba n’abazimbi basobola okutabikamu ebirala.
No Comment