Emboozi

Bannakawere bafunye ekifo ekibabudaabuda

Nnazzikuno ng’omukyala bw’azaala, agenda ewa nnyina okujjabjabwa. Oba ng’owooluganda omukyala nnakawere gw’awuliriramu emirembe agenda mu maka ge n’amulabirira okutuusa lw’assuuka. 

Mama's Touch Recovery Home abakyala we balabirirwa
By: Ritah Mukasa, Journalists @New Vision

Nnazzikuno ng’omukyala bw’azaala, agenda ewa nnyina okujjanjabwa. Oba ng’owooluganda omukyala nnakawere gw’awuliriramu emirembe agenda mu maka ge n’amulabirira okutuusa lw’assuuka. 

1. Miriam Halera n'omwami we John Bahati Halera mu kutongoza Mama's Touch

1. Miriam Halera n'omwami we John Bahati Halera mu kutongoza Mama's Touch


Kyokka ensangi zino bannakawere bangi babulwa ababalabirira olwo ne badda mu kukola emirimu gy’awaka, okulabirira bbebi n’obuvunaanyizibwa obulala. Okukkakkana nga kimutwalidde ebbanga okuwona. Abamu baggyamu n’obulwadde. 
Embeera eno yatuuka ku Miriam Halera, nnannyini kkampuni ya Infotrust Property Consultants mu Kampala. Miriam agamba nti bwe yazaala abaana be abasooka, yamalanga wiiki bbiri zokka okuwona kubanga mukulu we Nnalongo yamulabiriranga bulungi ne bbebi we. 

Abagenyi bangi bajjumbidde omukolo

Abagenyi bangi bajjumbidde omukolo


Nnalongo yafubanga okulaba nga nnakawere aliira mu budde nga n’okumunyiga kw’otadde. Ebyembi, Nnalongo yafa era Miriam bwe yazaala abaana be abasembayo mu 2023 ne 2025, yatawaanyizibwa nnyo kubanga nnyina eyandimulabiridde yali mu kyalo ate nga bambi yanuuka omukono. 
Muto wa Miriam yagezaako okumunyiga naye nga tasobola kukola ky’amaanyi era nnakawere kyamutwalira emyezi munaana okuwona. 
Oluvannyuma Miriam yakola okunoonyereza n’akizuula nti abakyala bangi bayita mu kusoomoozebwa okwo era abamu bafiirwa n’obulamu bwabwe. 
Omwaka oguwedde yasalawo okutandika amaka bannakawere n’abakyala abalala abazitoowereddwa mwe basobola okulabirirwa mu ngeri eyoomulembe. Ng’ayambibwako omwami we John Bahati Halera, nnannyini JB Fashions, baayooyoose amaka gano ge baatuumye Mama’s Touch Recovery Home agasangibwa e Kiwatule mu Kampala.

Miriam Halera (atudde) ng'ali wamu n'abasawo abalabirira abakyala

Miriam Halera (atudde) ng'ali wamu n'abasawo abalabirira abakyala

Baagatongozza ku Ssande nga February 1, 2026 ku mukolo okwabadde abagenyi abaasusse mu 200. Mwabaddemu ba Tiktokers ne bassereebu okwabadde omuyimbi Chosen Becky Ssekajja, Hajati Kuluthum n’abalala. Amaka gano galimu ebifo ebyenjawulo okuli; akasenge omubudaabudibwa (dark room) nga wano omukyala yenna azitoowereddwa agenda n’ayogera ne kkansala kyokka nga bombi tewali alaba munne. Waliwo n’ebisenge bisatu ebyomulembe omusulwa bannakawere. Okumpi awo waliwo ekisenge kya masaagi n’ekya babbebi. Kyokka nga n’ebweru waliwo ebifo ebiyooyoote obulungi awawummulirwa nga mulimu n’ebyesuubo ebizungu. Emmanju waliyo ekinaabiro omuli ekibaafu nnakawere mwe bamunnyika n’okumunyiga mu ddagala lya herbal