MINISITULE y’ebyobulamu etegeezezza ng’omusaayi ogufunibwa mu bantu gweyongedde okubeera omulamu obulungi.
Bagamba nti, kati ebitundu 97 ku 100 ku musaayi oguweebwayo guba mulamu obutafaananko nga bwe kyali ebiseera by’edda.
Dr. Samuel Davis Wante, akulira eby’okukung’aanya omusaayi mu kitongole ky’eggwanga ekya Uganda National Blood Transfusion Services agamba nti, omusaayi gwonna ogukung’aanyizibwa gusooka kwekebejjebwa mu ngeri ey’ekikugu okuzuula oba teguliimu ndwadde yonna, era ayongera okukubiriza abantu okuwaayo omusaayi.
ENDWADDE ZE WEETAASA N’OGABYE OMUSAAYI
Dr. Wante agamba nti, abantu bawaayo omusaayi okutaasa abo abagwetaaga, wabula ate nabo babeera beetaasa endwadde eziyinza okubaviirako obuzibu.
Annyonnyola nti, buli omusaayi lwe guyitirira obungi mu mubiri guvaako omuntu okufuna endwadde ezo ezitasiigibwa okuli;
1 Puleesa.
2 Ssukaali.
3 Okwekwata kw’omusaayi mu misuwa n’ofuna obukulungwa ekyobulabe.
4 Omusaayi omungi guvaako omuntuokufuna omugejjo oguzaala endwadde endala eziyinza okuvaako okufa.
5 Omusaayi omungi guyinza okuvaako omuntu okufa mu ngeri ey’ekibwatukira olw’okulemererwa okutambula obulungi mu misuwa.
Omuntu akuze nga mulamu yatondebwa okuba nga yandibadde ne liita z’omusaayi eziri wakati wa liita mukaaga n’omusanvu.
Mu bakazi obungi bw’omusaayi buba bubalibwa mu 12.5 -17 per deciliter ate abasajja buba bwa 13.5 - 18 grammes per centiliters ng’obungi buno bwe busukka ekiddirira ziba ndwadde.
Obutoffaali mu musaayi gw’omuntu (Red blood cells) bubalirirwa okuba nga bukaddiwa buli luvannyuma lw’ennaku 90 okutuuka ku 120 gye myezi esatu ku ena (3-4).
Obutoffaali mu musaayi obuba bukaddiye omubiri gubusindika mu kibumba nga nakyo oluvannyuma kiguweereza mu nsigo.
Dr. Wante wiiki ewedde yabadde mu kutongoza okugaba omusaayi okw’ekikungo okwamaze ennaku nnya mu Kampala okwategekeddwa ekitongole ekikola ku by’amafuta mu ggwanga ekya Uganda National Company (UNOC) mu bifo eby’enjawulo omwabadde ku Good Shed, Kaleerwe ku katale, e Mulago ku nkulungo ku City Square mu masekkati ga Kampala ne ku kitebe kya UNOC ku luguudo wa Yusuf Lule Road.
Robert Mukondo, okuva mu UNOC eyawomye omutwe mu nteekateeka eno, omusaayi ogukunukkiriza mu yuniti 500 gwe gwakung’aanyiziddwa.
Dr. Wante yagambye nti, omusaayi ogukung’aanyiuzibwa okweyongera okubeera omulamukivudde ku bukwakkulizo obuliwo omuli okusooka okuteekateeka oyo aba agenda okugaba omusaayi nga kimwetaagisa okubeera omulamu nga talina ndwadde yonna okuli; siriimu, akafuba, omusujja gw’ekibumba (Hepatitis B), endwadde z’ekikaba n’endala.
Buli muntu akuze okuva ku myaka 17 okutuuka ku 55 eri abakyala, ate abaami okuva ku myaka 17 okutuuka ku myaka 65 nga taliimu nkenyera ya bulwadde bwa lukonvuba omuli; siikosseero, puleesa, ssukaali, omusujja gw’enkaka, endwadde z’ekikaba n’okubeera ng’oli ku bujjanjabi bw’eddagala lyonna, abakyala abayonsa n’abali mu nsonga z’ekikyala, n’endala bandibadde batona omusaayi.
EBISINGA OKUVAAKO OBWETAAVU BW’OMUSAAYI MU BANTU
lObubenje ku makuboobuvaako abantu okwetaagaomusaayi omungi.
lAbaana abawala abafunaembuto nga tebanneetuukanga bwe kutuuka okuzaalabavaamu omusaayi munginga gwetaaga okuzzaawo.
lEndya embi naddala mu baananga bwe balwala baba beetaaga okuteekebwako amacupa g’omusaayi.
lOmusujja gw’ensiri nga gye buvuddeko gubadde gwakosa ebitunduby’eggwanga ebimu nga guno gunywa omusaayi mu balwadde.
lObungi bw’abantu abalina siikosseero okweyongera ng’ate beetaagaomusaayi.
lAbalongoosebwa emitima nabobaba beetaaga omusaayi mungi,n’ebirala.
Dr. Wante agamba nti abantu abagaba musaayi bakyali batono nga kino kiva ku butamanya nga kw’ogwo ogwetaagisa mu malwaliro bafunako ekitundu 86 ku 100 (86%) ate ng’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Heath Organisation (WHO) kyagala n’ebitundu 14 ku 100 (14%) ebisigaddeyo nabyo bibe nga bikung’aanyizibwa.