Emboozi

Abakugu boogedde ku bulabe obuli mu kukozesa amanda mu kufumba

BANNAYUGANDA balabuddwa ku bulabe obuli mu kwongera okukozesa amanda oba enku mu kufumba eby’okulya nti kino bwebataakikomye, tekigenda kukoma ku kyakubalwaza kwokka wabula bajja kwongera n’okusaanyawo obutonde bw’ensi.

Abmu ku bantu abaabaddewo mu kutongoza etterekero lya Gaasi wa TotalEnergies. Okuva ku w'okuna ku w'okubiri ku kkono ye Fazira Kawuma, RCC we Jinja Rechard Gulume, Stephen Kaboyo, Biova Agbokou ne O
By: Ssekaggo Emmanuel, Journalist @New Vision

BANNAYUGANDA balabuddwa ku bulabe obuli mu kwongera okukozesa amanda oba enku mu kufumba eby’okulya nti kino bwebataakikomye, tekigenda kukoma ku kyakubalwaza kwokka wabula bajja kwongera n’okusaanyawo obutonde bw’ensi.

Bino byogeddwa Omubaka wa Czech Republic mu Uganda Stephen Kaboyo bw’abadde e Jinja mu kutongoza etterekero lya gaasi eppya eryazimbiddwa aba Total n’ekigendererwa eky’okulaba nga Bannayuganda beeyogera okumukozesa naddala mu kufumba babeere nga bafuuse basaale mu kukuuma obulamu bwabwe ate n’okutaasa obutonde bw’ensi.

Kaboyo yagambye nti enkyukakyuka mu mbeera y’obudde efuuse ekizibu ennyo mu ggwanga okusinga evudde mu kusaanyaawo obutonde bw’ensi naddala ng’abantu batema emiti ekiyitridde era n’alabula nti omuze guno bwegutaviibwako eggwanga lijja kugwa mu matigga.

Wano weyasabidde Bannayuganda okufuba okuva mu nkola ey’okufumbira ku manda oba enku wabula badde ku nkola eya ggaasi basobole okusiala nga balamu ate nga n’obutonde bw’ensi babukuumye.

Abamu ku bantu abaabaddewo mu kutongoza etterekero lya Gaasi wa TotalEnergies. Okuva ku w'okuna ku kkono  ye RCC we Jinja Rechurd Gulume, Stephen Kaboyo, Biova Agbokou ne Olufemi Babajide.

Abamu ku bantu abaabaddewo mu kutongoza etterekero lya Gaasi wa TotalEnergies. Okuva ku w'okuna ku kkono ye RCC we Jinja Rechurd Gulume, Stephen Kaboyo, Biova Agbokou ne Olufemi Babajide.

Akulira TotalEnergies mu Uganda Olufemi Babajide yasabye Bannayuganda okubaako kyebakola mu kulwanyisa enkola y’okufumbisa enku n’amanda badde ku ggaasi kubanga okusinziira ku bakugu, ssente z’okozesa ng’ogula amanda buli lunaku, nnyingi nnyo bw’ogerageranya n’ezo ate z’okozesa singa oba ofumbira ku ggaasi. Yagambye nti ekimu ku bikyalemeza Bannayuganda okwettanira enkola y’okufumbira ku ggaasi kwekuba ng’abamu bakyalowooza nti wa bbeeyi nnyo oluusi n’obutamanya nkozesa ye ntuufu bwatyo n’asaba Gavumenti eyongere amaanyi mu kubangula abantu ku bikwata ku kufumbisa gaasi.

Omumyuka wa mmeeya w’ekibuga kye Jinja Fazira Kawuma yagambye nti singa Bannayuganda beeyongera okukozesa gaasi mu kufumba, abantu naddala abakyala bajja kwanguyirwa enkola y’emirimu anti ng’osobola okufumba ate nga bw’okola emirimu emirala.