Emboozi

Lwasa agabye bye yagula ng’asiramuse

GYE buvuddeko, akatambi k’eyali omugagga Emmanuel Lwasa ng’ali mu Kkanisa y’omusumba Kakande kaasaasaana ku mitimbagano

Lwasa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GYE buvuddeko, akatambi k’eyali omugagga Emmanuel Lwasa ng’ali mu Kkanisa y’omusumba Kakande kaasaasaana ku mitimbagano.

Yalabikiramu ng’asabirwa n’okugwa ebigwo era abantu ne beebuuza eddiini entuufu mw’agwa kuba yali ky’ajje asiramuke ng’afunye n’erinnya lya Akram. Abeebuuza abaanukudde n’agamba nti entalabuusi, amakanzu, emisaalo n’obulaadi bye yagula ng’asiramuse, abigabye kuba kati takyali.