Emboozi

Minisita asomesezza ku byafaayo by’ettaka mu Buganda

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja alaze ebyafaayo by’ettaka n’engeri abantu ssekinnoomu gye baatuuka okulifunako obwannannyini. Mayanja yasinzidde mu pulogulaamu ya Mugobansonga  Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ng’ekubirizibwa Terah Kaaya.

Minisita Mayanja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja alaze ebyafaayo by’ettaka n’engeri abantu ssekinnoomu gye baatuuka okulifunako obwannannyini. Mayanja yasinzidde mu pulogulaamu ya Mugobansonga  Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ng’ekubirizibwa Terah Kaaya.

Yagambye nti,  mu Buganda ettaka lyonna mu kusooka lyali lifugibwa mu Bika, ebyalina obukulembeze okuva wansi okutuuka waggulu ku mukulu w’Ekika (omukulu w’Akasolya). Wansi w’omukulu w’Akasolya waaliwo Owessiga, wansi we nga waliwo Owoomutuba, ng’addirirwa Owoolunyiriri ne wasembayo Owennyumba omuntu mw’azaalibwa.

Ofiisi ezo zaalimu obuzaale ng’omuntu takubwako kalulu, wabula nga bamuzaala buzaazi n’aweebwa obuvunaanyizibwa obw’ensikirano. Obukulembeze bw’ekika kino bwe buli mu Ssemateeka w’eggwanga era bulambuluddwa bulungi.
Kyokka ebintu byakyuka mu 1900, Katikkiro Apollo Kaggwa ne banne okwali Zakaliya Kisingiri eyali omuwanika ne Stanislas Mugwanya eyali omulamuzi bwe beewa obuyinza ne beefuula ba ‘regents’ ekitiibwa ekyali tekimanyiddwa mu nnono. Olw’okuba baakitegeera mu biseera ebyo ng’amaanyi g’omuntu  gasinziira ku ttaka ly’alina, beegabira ettaka ddene.
Abazungu baawa Apollo Kaggwa amagezi afuule Daudi Chwa, omwana omuto ow’omwaka ogumu n’ekitundu Kabaka asobole kusigala nga y’afuga okutuusa
omwana lw’aliweza emyaka 18. Okumanya baali beeyagaliza, mu ndagaano bassaamu nti Chwa bw’aliweza emyaka egyo, olwo abakuza be nga bafuuka ‘Native Ministers’.
Kabaka eyasooka okuba nnannyini ttaka lyonna mu Buganda, baamuwa mmayiro 350 zokka, kyokka nazo olwamala ne bazifuula za ofiisi nga Kabaka yenna aliddako, y’alizivunaanyizibwako.
Abantu abalala abakulu nga Bannaalinnya nabo beegabira ettaka ddene n’abaami abalala, Hajji Muhammad Bukenya; Abantu bafeeyo bamanye obukulu bw’okukuuma obuyonjo, kuba waliwo  abatakifaako. David Kagumba; Okusobola okutumbula ebyobulamu mu Kampala, KCCA eddemu okufuuyira ensiri kuba zibeera nnyo mu kasasiro. ekintu ekyaleetera Abaganda abasinga, okufuuka abasenze ku  ttaka lye baalinako obwannannyini mu kusooka. Era ekiseera kyatuuka Kaggwa nga omuntu ng’alina mmayiro ezisukka mu 300 ezize nga omuntu.
Muteesa bwe yawang’angusibwa mu 1953, gye yakitegeerera nti amaanyi gaali gaseeseetuse nga gagenze mu bibiina by’obufuzi. Bwe yalaba ng’abantu ab’enjawulo bakoze ebibiina by’ebyobufuzi nga Iganatius K. Musaazi ne Abu  Mayanja abaakola  UNC, nga Ben Kiwanuka ne Kasolo bakoze DP n’asalawo naye akole ekibiina ekikye ekya Kabaka Yekka (KY).
Omukago gwa KY ne UPC gwali gwa kiyita mu luggya kuba wadde okusooka gwabayamba okufuna  obuyinza mu 1962 nga tugenda okwefuga, gwasasika mu 1966. Bw’atyo oweekibanja yasigala ali mu bbanga nga taliiko ayamba okutuusa Museveni bwe yajja mu buyinza n’abalowoozaako. Museveni yateekawo ennyingo ya 237 mu Ssemateeka enyweza oweekibanja era ne lifuukira ddala teeka nga tewali muntu alina buyinza kugoba waakibanja ku ttaka. Ebiragiro Pulezidenti bye yawa bigamba nti,  w’ogula ettaka nga kuliko abantu obeera oguze mpewo kuba tolina buyinza bubakoonako wadde obubaggyako. Ettaka okuli abantu ne bw’oba oliguze oba nga balikuwadde  mu ngeri yonna ey’amateeka, ekirina ngeri gye kikosa bwannannyini
bw’abeebibanja.
Ebifo by’obuwangwa nga amasiro Gavumenti yabitwala era minisitule y’ebyobulambuzi y’ebivunaanyizibwako wadde nga waliwo abagafunirako ssent empitirivu ate nga tewali wadde gwe bawa embalirira. Kyokka olw’obukulu bwabyo, ye Pulezidenti yasalawo babikulaakulanye era babikuume bitiribiri era gye buvuddeko Gen. Proscovia Nalweyiso, Pulezidenti yamutikka  akawumbi kalamba nga za kumaliriza masiro g’e  asubi. Kyokka ekyewuunyisa, wadde buli muntu yafuna omugabo gwe okuli n’ogwa ofiisi ya Kabaka, osangayo abalala abawubisa ku ttaka lya ofiisi ez’enjawulo nga ery’Abaamasaza oba erya Bannaalinnya nga bagamba nti lyonna lya Kabaka.
Mu kisanja kino ekya 2026-2031, Mayanja yasabye abantu obutaterebuka nti bajja kubagoba ku bibanja byabwe, wabula bakole butaweera okubikolerako bafunemu ssente ezibaggya mu bwavu.