TAATA agambibwa okukuba omuyizi emiggo n’amutta ku Valentayini olw’okumusanga mu nju ne muwalawe, bamusindise mu kkooti okwewozaako.
Musaasizi Herbert Lumu agambibwa okutta Martin Bukenya 18 eyali omuyizi wa Hill Side SS - Matugga, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Matugga Esther Nahiirya amusindise mu Kkooti Enkulu okutandika okwewozaako oluvannyuma ly'okumusomera omusango guno.
Musaasizi yaleeteddwa mu kkooti ku ssaawa 4:00 ez’oku makya. Bazadde b'omugenzi nga bakulembeddwa maama Imelda Nakiyemba nabo baabaddeyo.
Omulamuzi yamusomedde omusango n’amutegeeza nti yaguzza nga February 14, 2026. Omulamuzi Nahiirya yagambye nti, ku olwo Musaasizi yakomawo awaka akawungeezi nga Bukenya ali n'omuwala agambibwa okuvaako okuttibwa kwe. N’ategeeza nti, mu nnyumba omuwala ne Bukenya baalimu ne baganda b’omuwala, ekitegeeza nti mu nnyumba mwalimu abantu bana. N’agamba, Musaasizi bwe yakonkona, abaana baakitegeera nti kitaabwe y’akomyewo, ne bafuluma ennyumba ne badduka. Bukenya kwe kwekweka wansi w’ekitanda gye yamuggya.
Mu bujulizi obwasomeddwa, kigambibwa nti yakubira Bukenya wansi w’ekitanda ng’akozesa kalittunsi n’amusikayo n’amukuba buli wamu era bwe yalaba ng’afudde, n’addukira e Gulu poliisi gye yamusanga. N’agamba nti lipoota y’eddwaaliro yalaga nti Musaasizi yakuba omugenzi n’amumenya embiriizi era omubiri gwaliko enkwagulo.
Wano we yasinzidde n’amusindika mu kkooti enkulu eguwulire era emusalire