BANNAYUGANDA abali e Bungereza tebatya biduduma. Gye buvuddeko,
omuyimbi Levixone yabaddeyo n’ekivvulu wabula munne Desire Luzinda yavudde mu
America n’agenda amubugirize.
Abamu ku baabalabye bakira bagamba nti Desira yandiba nga y’omu ku bawala abataagala
kuwa musajja gaapu, bawala balala kubeekulubeesezaako. Ne ku siteegi bazze bombi ne
beenywegera awo ebigambo eby’okumukumu we byatandikidde mbu Desire aleme kukoma ku kukyusa linnya lye ku mutimbagano (yagattako erya Mrs Lubs eriva mu
Lubyogo erimu ku linnya lya Levixone) wabula amuzaalireyo omwana. Desire ne Levixone baagattibwa mu bufumbo obutukuvu wabula buli omu, alinayo omwana mu mukwano gye yasookera.