ABASUUBUZI balagiddwa bizinensi omugenda okuteekebwa ssente ezitaliiko magoba mangi okubayamba okusitula ebyenfuna n’ennyingiza yaabwe. Bino byabadde mu lukung’aana omwegattira bbanka ez’enjawulo mu ggwanga olwatuumiddwa the 9th Annual Bankers’ Conference.
Abakulira bbanka n’ebitongole eby’enjawulo munda n’ebweru w’eggwanga, abalwetabyemu bakkaanyiriza okutandika okuwola ssente abantu ssekinnoomu ne kkampuni ezirina bizinensi ezigwa mu bitongole okuli; eky’obulimi, eky’obulambuzi, eky’obugagga obw’omu ttaka, ekya ssaayansi ne tekinologiya, eby’amazzi n’obutonde bw’ensi n’ekigendererwa ky’okusitula ennyingiza y’abantu n’okuyambako gavumenti okutuukiriza enteekateeka z’okusitula byenfuna by’eggwanga.