ENNAKU zino abantu bangi beeyunidde okusala emibiri (okusala amasavu) balabike bulungi n’okugoba endwadde nga puleesa, ssukaali n’endala.
Dr. Frank Kayanja okuva ku ddwaaliro lya Case annyonyola nti, waliwo enkola nnyingi ez’okusala omubiri okugeza okuyita mu y’okukola dduyiro newankubadde abasinga bagenda ne babalongoosa okusala omubiri mu bwangu. Kino bakikola okugeza mu lubuto, mu mugongo, mu mikono n’ebirala.
Ebiseera ebisinga obunene bw’omubiri bukwatagana n’embeera omuntu gye yeeyisaamu mu kulya, mu kukozesa omubiri dduyiro, n’ensonga endala.
Wabula kisaanye omuntu okwegendereza ng’akozesa naddala enkola ezitaliiko bukakafu bwa ssaayansi okugeza okukozesa empeke, n’ebirala.
OKULONGOOSEBWA AMASAVU LWE KUFUUKA OKW’OBULABE
Dr. Kayanja agamba nti, singa omuntu abeera teyeegenderezza naddala ng’ava okuggyibwamu amasavu amabi mu mubiri asobola okufuna obulabe obw’amaanyi.
By’olina okugenderera :
1 Ekifo we bakulongooseza: Singa bakulongooseza mu kifo ekicaafu nga n’ebikozesebwa bijama kyandikusiiga yinfekisoni ku biwundu.
2 Obutakozesa bakugu: Singa obujjanjabi bukolebwa omuntu nga talina bumanyirivu bumala, kyandikosa obulamu bwo.
3 Obutagoberera biragiro bya musawo. Singa olongoosebwa n’onyooma ebiragiro by’omusawo oyinza okuggyamu endwadde omuli ekiwundu okuzimba n’obulumi okweyongera ekivaako obutawona mangu.
4 Omusaayi ogutakoma: Singa olongoosebwa n’otokwatibwa ulungi omusaayi ne gusigala nga gukulukuta ekigumalamu ate nga kya bulabe.
5 Obulumi obweyongera: Dr. Kayanja agamba nti, omuntu abeera mu buzibu singa obulumi bweyongera n’ekiwundu okuzimba kisobola okuttula endwadde endala nga puleesa.
6 Ekiwundu okuvaamu amasira: Wano kibeera kyolekeddeokutana ekisobola n’okuvaako kookolo.
7 Omusujja ogwa buli kiseera. Bw’olongoosebwa n’otoggweebwako musujja kyongeza ku bulumi n’ekiwundu obutawona mu budde.
ENKOLA EZISALA OMUBIRI AWATALI KWERALIIKIRIRA
Dr. Kayanja annyonnyola nti,waliwo engeri endala ez’okusala omubiri oba amasavu n’olabika bulungi nga togenze mu ddwaaliro kulongoosebwa. Kuno kuliko:
l Okukyusa embeera y’okulya:
Oyinza okukendeeza ku mmere n’ebyokunywa ebirimu amasavu, ssukaali omungi naddala omukolerere, n’ebirala. Wano wettanire enva endiirwa nga nnakati, ebbuga, doodo, ejjobyo. Gattako ebibala ng’emiyembe, emicungwa, amenvu, amapeera, ovakkedo, ssaako ebirungo ebirimu ebiwuziwuzi ekyanguya okukuba emmere mu lubuto ekiyamba okusala amasavu.
l Okukola dduyiro : Omukugu agamba nti waliwo dduyiro ow’enjawulo gw’osobola okukola okusala ebitundu by’omubiri eby’enjawulo. Ono ayamba okuwa omubiri amaanyi n’obutasaka masavu. Okugeza osobola okutambula, okudduka, okuwuga oba okukola dduyiro omulala gw’osobola.
l Okwebaka ekimala: Wadde abasinga bakibuusa amaaso, kikulu mu bulamu okwebaka essaawa eziri wakati wa 7 ne 8 okusobozesa omubiri okuwummula n’okwezza obuggya.
l Okufuna amagezi okuva eri abakugu mu by’obulamu: Abantu abamu bayinza okwetaaga obuyambi obw’enjawulo naddala ku mugejjo. Omukugumu by’endya ayinza okukuyamba okuteekateeka enkola ennungi emugwanira okuguwonya okusinziira ku mbeera y’obulamu bwo.
l Okwewala situleesi: Weewale okweteeka ku bunkenke ekisusse, kuba bangi kibaleetera okugejja kuba bettanira okulya nga bali mu mbeera eno.