MINISITULE y’ebyobulamu eyongedde okutema empenda okukendeeza omuwendo gw’abaana abazaalibwa n’obulemu nga mu kiseera kino etadde essira ku kubakebera nga bwe bazuulibwamu obulemu obw’ekika kyonna basindikibwa ku mutendera gw’eddwaaliro gye balina okufuna obujjanjabi.
Dr. Moses Muwanga, omukugu ku mbeera z’abaliko obulemu mu minisitule y’ebyobulamu bwe yategeezezza bwe yabadde mu kutongoza wiiki y’okwefumiitirizaku bulamu bw’abantu abaliko obulemu ku Mmande ku ssomero lya bakiggala erya Wakiso SS.
Muwanga yagumizza abawangaala n’obulemu nga tebalina bikozesebwa nti abo abakeberebwa ku malwaliro amakulu nga balina obulemu basobola okufuna ebikozesebwa nga obugaali bw’abalema ku malwaliro ga disitulikiti.Yasabye abazimba amasomero, amalwaliro, amakubo n’ebifo byonna ebiwangaaliramu abantu bonna okugenderera enzimba yaabyo okusobola okwanguyiza entambula y’abaliko obulemu.
Omubaka wa Palamenti omukyala akiikirira abaliko obulemu, Laura Kanushu yategeezezza nti, abantu 13 ku buli 100 bawangaala n’obulemu nga guno omuwendo munene ogusaanidde okufiibwako.
Kanushu yasabye Gavumenti okuteeka ebitanda ebya wansi mu malwaliro okwanguyiza abakyala abaliko obulemu nga batuuse okuzaala n’okwongera ensimbi z’okuyamba abantu abaliko obulemu z’ewa minisitule zonna mu kifo ky’okulekera obuvunaanyizibwa bwonna eri minisitule y’emirimu n’ekikula ky’abantu.
Esau Muhumya, eyakiikiridde atwala ebyobulamu mu disitulikiti y’e Wakiso yasabye Gavumenti okutendeka abavvuunula obubonero basobole okuwuliziganya obulungi n’abalwadde abaliko obulemu bw’obutawulira era ekyuse enzimba y’amalwaliro agatakaluubiriza ntambula ya bantu abaliko obulemu.