Emboozi

kikuliraEngeri y’okulwanyisa obusaanyi obulya kasooli ne bukufiiriza

OBUSAANYI kimu ku bisattiza abalimi ba kasooli mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo ekibafiiriza ssaako eggwanga okufiirwa ssente.

Dr.Otim ng’alaga omusiri gwa Kasooli oguliiriddwa obusaanyi.
By: Musoke Herbert, Journalist @New Vision

OBUSAANYI kimu ku bisattiza abalimi ba kasooli mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo ekibafiiriza ssaako eggwanga okufiirwa ssente.


Dr. Micheal Otim, omukugu ku by’ebiwuka mu kitongole ekya National Crops Resources Research Institute (NaCRRI) ekinoonyereza ku by’obulimi wansi w’ekitongole kya National Agricultural Research Organization (NARO) agamba nti, obusaanyi buno bwa bika bibiri kyokka nga bwonna bwa bulabe.


Obusaanyi buno kuliko ekika kya African Army worms (bimanyiddwa nga Komando worms oba Okalombo) ne Tailed Army Worms, nga buno bwonna bwa bulabe era busobola okusaanyaawo ebirime ne bukosa amakungula okutuuka ku bitundu 20 ku 100, kyokka mu Uganda bwali butuuseeko ku bitundu 50 ku 100.

Dr.otim Ng’alaga Omusiri Gwa Kasooli Oguliiriddwa Obusaanyi

Dr.otim Ng’alaga Omusiri Gwa Kasooli Oguliiriddwa Obusaanyi


“Buno busobola okubiika okutuuka ku magi 1000 mu bulamu bwabyo nga kino kitegeeza nti, kyetaagisa

ebisaanyi ebikazi bitono ddala okumalawo yiika y’ebirime. Bino bibiika amagi ku bikoola mu birimba ebibeera mu langi ya kitaka oba ekyeru era obusaanyi bwalulibwa mu bungi,” Dr. Otim bw’agamba.


Obusaanyi buno butawaanya nnyo mu kiseera ky’akasana ate nga busobola okutambuzibwa empewo kuba enkuba bw’ebeera etonnya ebiviirako okuziyira ne bifa ekikendeeza obungi bwabyo. Singa omulimi afukirira, asobola okutta amagi n’ebibeera nga byekwese mu ttaka kw’ossa okuwa ekirime amaanyi okwerwanako,” Dr. Otim bw’agamba.


Annyonnyola nti, obusaanyi businga kulya mu budde bw’ekiro olwo emisana ne bwebaka kyokka ng’obulabe bwe bukola bubeera bwa maanyi ebitagambibwa.


BW’OMANYA NTI OLUMBIBWA OBUSAANYI

Dr. Otim agamba nti, ng’omulimi olina okutwala obudde okulambula ennimiro yo okulaba nga temuli biwojjolo oba obusaanyi bwennyini.


Kebera ebikoola by’ebirime byo okulaba oba kuliko ebirimba by’amagi nga bino bibeera bibikkiddwa ekibubi ekyeru oba ekya kitaka.


Ebirime naddala kasooli bw’abeera yaakatandika okuliibwa obusaanyi afaanana akawuka akawotosa ebikoola, kyokka bw’agenda yeeyongera olaba ekikolo kyonna nga kisensebuse.

OKULWANYISA OBUSAANYI


Dr. Otim agamba nti, mu kitundu omubadde obusaanyi, olina okukabala bulungi ettaka okusobola okutta obusaanyi obuli mu ttaka.

Simba nga bukyali bugende okutandika okulya ng’ebirime bikuze kuba bwe bibeera bikuze obulabe tebubeera bwa maanyi. Tabika ebirime ebiriibwa

Magi g’obusaanyi

Magi g’obusaanyi

obusaanyi buno n’ebirime ebitatawaanyizibwa nnyo ng’ebijanjaalo, soya, n’ebirala.
Abalimi abamu balina eddagala lye beetabulira lye bakozesa okuva mu evvu, taaba, kaamulali, katunguluccumu, sabbuuni w’obuwunga, n’ebirala.


Osobola okugenda ng’olonda amagi n’ebisaanyi byennyini n’obisaanyaawo ng’obyokya oba okubinyiga.

Okufuuyira n’eddagala nakyo kiyamba, nga wano waliwo eddagala erikkirizibwa gamba nga ekika kya Cypermethrin 5EC.


ENSOBI EZIKOLEBWA EDDAGALA NE LITAKOLA

Dr. Otim agamba nti, abalimi bamanyi okwagala okukekkereza ne batabula eddagala mu bipimo ebitawera.


Okugeza eddagala lya Cypermethrin 5EC litabulwa mu bipimo bya miiru 100 oba 120 mu liita z’amazzi 20. Singa otabula wansi w’ebipimo bino eddagala liyinza obutakola kuba obusaanyi bwetaaga eddagala kka.


Obusaanyi olina kubufuuyira ku makya nnyo oba olweggulo kuba singa ofuuyira mu musana omungi ebisaanyi byekweka n’ofuuyira ng’eddagala teribituukako.


Mu ngeri y’emu olina okufuuyira mu bwangu (omwezi ogusooka) kuba singa byongera okukula biyingira munda eddagala gye litabituukako.

Tags:
Obusaanyi
Army worms
NARO
African Army worms