Emboozi

Engeri gy’obikka kkooko okufuna akawoowo ka chokoleeti

Ng’omaze okunoga ebibala bya kkooko, n’omussa ku ttundubaali, funa ekiti ky’omukubisa okuggyamu ensigo nga tezonoonese.

Ensigo Za Kkooko Ezisunsuddwamu Ezigenda Okubikkibwa
By: Herbert Musoke, Journalist @New Vision

Ng’omaze okunoga ebibala bya kkooko, n’omussa ku ttundubaali, funa ekiti ky’omukubisa okuggyamu ensigo nga tezonoonese.

Jjukira singa okozesa akambe okutema ekiwaawo ky’ekibala oyinza okutemeramu ensigo ekigenda okwonoona omutindo gwayo n’oluusi okuvunda ekyongera okwonoona omutindo gw’ensigo.

Ensigo Za Kkooko Ezisunsuddwamu Ezigenda Okubikkibwa

Ensigo Za Kkooko Ezisunsuddwamu Ezigenda Okubikkibwa


OKUBIKKA ENSIGO ENTUUFU

Omutendera gumu mukulu nnyo mu kutuusa ensigo za kkooko okufuna akawoowo ka Chokoleeti akali ku mutindo ogwetaagibwa ku katale nga wano kkooko w’afunira akawoowo ka chokoleti. Wano era, olina okusunsulamu ensigo enfu, gw’onoze nga muto mu butanwa n’ebitoma.


Waliwo enkola enzenjawulo ze bakozesa okubikka kkooko ono okuli ey’okukozesa bokisi, okukola entuumu ng’abalala bakozesa ebisero, obukutiya n’ebirala nga Mulindwa agamba nti ng’abakugu enkola ya bokisi erina okubaamu ebituli n’okutuuma ze bakubiriza abalimi okukozesa.


Henry Lwanga omulimi wa kkooko e Kasawo mu Mukono agamba nti kitwala ennaku 7-8 ng’omukyusa buli oluvannyuma lwa nnaku bbiri abadde wansi n’adda waggulu. Wano babeera ne bokisi nnya ezissibwa mu ngeri y’amadaala ng’ensigo zisookera mu bokisi ya waggulu olwo ne zigenda nga zikyusibwa okussibwa mu bokisi eddako wansi.


“Mu kiseera we tumubikkira abeeramu amazzi ebitundu 100 ku 100, ennaku omusanvu we ziggweerayo abeera ku 55 ku 100.

EKIBEERAWO MU KUBIKKA

Annyonnyola nti bw’obeera okozesa bokisi, kakasa bokisi eyo ejjudde oba ebulako kimu kyakusatu okujjula kimusobozese okukuuma obulungi ebbugumu olwo obuwuka bwa ‘Yisiti’ busobole okumenya obubisi okuva ku nsigo omubisi ne gufuuka omwenge ekireetawo obubu.

Mulindwa Ng’alaga Bbookisi Mwe Bassa Kkooko

Mulindwa Ng’alaga Bbookisi Mwe Bassa Kkooko


Oluvannyuma obuwuka bwa lakitiki ‘Lactic’ asidi ne butandika okulya omwenge azaaliddwa yisiti nga bwe buzaala ebirungo asetiki ‘acetic’ asidi obuzaala ebbugumu okutuuka nga mu bbugumu lya 45-50. Kino kiyamba okutta ensigo nga tekyamera olwo n’efulumya emmere eyandibadde enkozesebwa mu kumera olwo n’ekyuka okuva mu kakobe okudda mu kitaka n’okufuna akawoowo ka chokoleti.


“Noolwekyo kikulu okubikka obulungi kkooko mu kiseera kino, okukuuma ebbugumu olwo ofune ekisinga ng’ebbugumu teriyitamu. Mu ngeri y’emu lisaanira okuba nga lisaasaanye bulungi ku buli nsigo nga y’ensonga lwaki olina okutabulamu buli luvannyuma lwa nnaku bbiri ate abakozesa bokisi ne bamukyusa okuva mu bbokisi emu okudda mu ndala n’obuwuka buno obw’omugaso okutuuka ku buli nsigo,” bw’agamba.


Annyonnyola nti era ensigo zino zetaaga okuyingizaamu omukka ogussibwa okuyamba obuwuka. Wadde nga obwa yisiti busobola okukola nga tewali mukka guno, obwa lakitiki asidi’ bukola mu mbeera zombi, singa kkooko tafuna mukka gussibwa okuyita mu kutabulamu obuwuka bwa asetic tebukola nga wano ensigo zifuuka nzirugavu munda.

Ennaku ebbiri ezisooka kkooko abeeramu n’ebbugumu nga lingi nga lino lye limufumba n’aggya bulungi era nga kubeerako obubu nga buno bulungi ku mutendera guno,” bw’agamba.

Mulindwa agamba nti mu nkola y’okutuuma kkooko, osala endagala nga ziwerako n’ozikubamu obutuli n’ozaliirira ku ttaka olwo n’oyiwako ensigo za kkooko ng’ozituuma wamu era n’oddamu n’obikkako endagala n’ekiveera oba ettundubaali okukakasa nti ebbugumu likuumibwa.

Tags:
kkooko
OKUBIKKA ENSIGO