AMAZZI kimu ku byetaago ebikulu mu bulimi, obulunzi n’obulamu bwa bulijjo kyokka nga leero enkyukakyuka mu mbeera y’obudde kifudde kizibu okumanya enkuba
lw’etandika ne lw’ekoma.
Ng’enkuba ya sizoni y’okubiri era esemba mu mwaka ate nga y’esinga obuwanvu etonnya, weetaaga okulembeka amazzi mu kiseera ng’enkuba etonnya g’osobola okukozesa mu kiseera ky’omusana okunywesa ebisolo, ebinyonyi, okufukirira oba n’okukozesebwa awaka.
Abalimi ab’enjawulo balina enkola ez’enjawulo ze bakozesa okulembeka amazzi okuli agali ag’ebizimbe ne mukoka.
OKUSIMA EKIDIBA
Philip Kalere dayirekita wa Gomba Next Generation Model Farm ku kyalo Kigezi mu ggombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba emu ku ffaamu z’ente z’amata,
okulima omuddo ku yiika ezisoba mu 200 n’amatooke yiika 25 era omuwanguzi w’empaka z’Omulimi Asinga yasima ekidiba mw’aggya amazzi agaddukanya ffaamu. Olw’okuba Gomba esangibwa mu kitundu ky’olukoola emu ku bitundu by’eggwanga ebisinga okukozesa ekyeya nga wano Kalera yalina okusala amagezi ku ngeri y’okufuna amazzi g’agenda okukozesa okunywesa ente ze ate n’okufukirira omuddo n’ebirime ebirala.
“Olw’okuba wano twajja kukola bizinensi, twasalawo okusima ddaamu ya mmita 20 ku 60 nga tweyambisa ttulakita olwo ne tutandika okukung’aanya mukoka.
Mu kusooka amazzi gakkanga mu bwangu wabula kati gabeererawo ddala era eringa nnyanja,” Kalera bw’agamba.
Kalera, ddaamu eno y’emuwa amazzi gaakozesa okunywesa ente, okufukirira ebirime n’okukozesa awaka nga yagazimbira akasenge akagasengejja mu ngeri y’obutonde okukakasa nti, agakozesebwa gabeera mayonjo ddala.
“Okukakasa nti, amazzi gano gabeera mayonjo, nafuna omukugu n’azimba akasenge ng’apanga amayinja g’enjazi omuyita amazzi. Oluvannyuma gadda mu musenyu gw’ennyanja n’oluvannyuma ne gadda mu mayinja nga tegannayiika mu kinnya kye twasiba nesseminti we tugaggya okugakozesa,” Kalera bw’agamba.
Agamba nti, ekidiba kino kisimibwa ku ludda lw’ekikko okusobozesa mukoka okukung’aanira awamu. Wadde nga mu kusooka amazzi gano gasooka ne ganguwa
okuggwaawo naye ekitundu ekyo gye kikoma okunywa amazzi, gatuuka ekiseera nga tegakyakalira ne gakola n’ensulo.
Mu ngeri y’emu assaako omuddo nga kitengejja okusobola okugakuuma nga tegafuumuuka ng’omusana gwaka nnyo.
ENKOLA Y’EKIWOJJOLO
Fr. Freddie Ssekyewa owa Celebrate Hope Ministries e Ssanje mu disitulikiti y’e Kyotera agamba nti, olw’okuba yalina enteekateeka y’okusitula embeera z’abantu mu kitundu okuyita mu kulima, kyali kimwetaagisa okukola okulima nga bizinensi nga balima omwaka gwonna.
Agamba nti, wakati mu kusala entotto baakwatagana n’ekitongoe kya Agriculture Business Initiative (aBi) ekyabalaga enkola y’okulembeka amazzi mu nnimiro ebayambye okufuna amazzi g’okufukirira ebirime byabwe.
“Mu nkola eno emanyiddwa nga ey’ekiwojjolo osima ekidiba ne kizimbibwa era n’okissaamu ekiveera ekiddugavu olwo n’ossaako amabaati nga bw’olaba basereka ennyumba ya ‘Busitoowa’ kyokka gano galina kuyiwa munda mu kidiba,” Ssekyewa bw’agamba. Mu kiseera kino alina ebidiba ebisoba mu 30 ng’ekimu kya mmita 11 x 11 ate n’okukka mmita 11. Kino kisobola okubeeramu liita 60,000 ez’amazzi nga gano gamusobozesa okulabirira ennimiro ze n’asigala mu bizinensi ekiseera kyonna kuba ekitundu kya Rakai kitawaanyizibwa ekyeya.
Agamba nti, ekirungi ky’enkola eno amazzi ogalembekera mu nnimiro yennyini gy’ogenda okugakozesereza ne kikendeeza ku nsaasaanya ng’ogatambuza okugazza mu nniniro gy’ogenda okugakozesereza.
OKUZIMBA TTANKA
Ttanka emu ku nkola ezimanyiddwa okukozesebwa mu kulembeka amazzi, nga wano osobola okugula ttanka oba okuzimba eya wansi. Bashir Mayiga owa Bwasandeku Mixed Farm ku kyalo Bwasandeku mu disitulikiti y’e Kalungu agamba nti, yali atawaanyizibwa amazzi okutuuka lwe yasima ttankay’omuttaka ng’etwala liita z’amazzi ezisoba mu bukadde butaano. “Ttanka eno esobola n’okukozesebwa abali awafunda kuba osobola okusima ekinnya mu luggya, ate abalala bagizimba ne wansi w’ekiyumba kuba kungulu kuzimbibwako ekiyitibwa ssiraabu ekolebwa emitayimbwa, amayinja ne sseminti ng’osobola okukolerako kyonna ky’oyagala,” Mayiga bw’agamba.
Mu kuzimba ttanka eno weetaaga okufuna omukugu abimanyi kuba singa ogizimba obubi, esobola okwabika amazzi ne gatandika okugenda oba okubumbulukuka n’eyonoona byonna ebigiriraanye. Era omukugu wandibadde omusaba okukukolera
enneetooloovu kuba eno amaanyi n’amazzi tegasobola kugikuba, kuba buli mayengo lwe gajja geetooloola bwetooloozi okutuuka lwe gakkakkana.
Mu nkola enokikwetaagisa okufuna ppampu okukuba amazzi okuva mu ttaka okugatuusa gye galaga nga wano osobola okufuna ekozesa amaanyi g’enjuba oba ey’amasannyalaze kuba zitera okuba nga zikozesa amasannyalaze matono ddala.
AMAZZI KU NNYUMBA
Dr. William Kabanda akola ne kkampuni ya URUS era omukugu mu mu kuteekateeka ffaamu z’okulunda agamba nti, omulunzi yenna yandibadde atandika n’amazzi agava ku biyumba bya ffaamu ye ng’agalembeka n’agassa mu ttanka okugakozesa mu mirimu egy’enjawulo ku ffaamu.
“Bingi ebyetaagisa amazzi okutandikira ku kuyonja ffaamu ng’okwoza ebiyumba, ebiriirwamu n’ebirala by’osobola okukozesa amazzi gano. Kyokka wadde oyinza okubeera n’okwekengera okubeeramu obuwuka, amazzi gano singa ogassaamu eddagala eritta obuwuka, gasobola okukozesebwa okunywesa ensolo zo,” Dr.
Kabanda bw’agamba. Agamba nti, ng’omulunzi abukola nga bizinensi, buli nnusu gy’osobola okutereka obutasaasaanya, ago gabeera magoba go. N’olwekyo olw’okuba amazzi kimu ku bintu ebisinga okwetaagisa ku ffaamu, engeri yonna gy’osobola okugafunamu gikozese.