ABALAMUZI b’empaka z’Omulimi Asinga bamaliriza wiiki eno okulambula abalimi
82 abaasunsulwa okulonda abawanguzi b’empaka zino abagenda okulangirirwa nga December 9 omwaka guno.
Abawanguzi 13 be bagenda okulondebwa nga bano bagenda kuva mu bitundu 10 byasalibwa mu ggwanga lyonna kugattibweko abalala basatu okuva mu kibinja eky’enjawulo eky’ebibiina by’obwegassi.
Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde okuyita mu kitongole kyayo ekya New Vision Foundation mu nkola ya Vision Sustainable Agriculture (VISA) ne zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne zissibwamu ssente kkampuni y’ennyonyi eya KLM, bbanka ya dfcu ne Koudijs BV. Abalamuzi abasala empaka z’Omulimi Asinga kuliko; Victoria Ssekitoleko abakulira era nga yaliko minisita w’obulimi, obulunzi n’obuvubi, Polof. Ogenga Latigo, eyaliko omubaka wa Palamenti era omulimi mu disitulikiti ya Agago.
Abalala ye Augustine Mwendya omukugu mu bulimi eyawummula,Dr. Emma Naluyima omusawo w’ebisolo era omuwanguzi w’empaka z’Omulimi Asinga2014 era nnannyini One Acre Farm-Bwerenga-Entebe, Andrew Byaruhanga okuva ku kitebe kya Budaaki mu Uganda ne Ronald Lubega owa dfcu Bank. sekitoleko, agamba nti, ng’abalamuzi kye baasoose okwetegereza kwe kuba nti, empaka z’omwaka guno zirimu abayivu naddala abaawummula egya Gavumenti nga n’abamu tebannakaddiwa ne basalawo okuyingira obulimi n’obulunzi.
Omuwanguzi anaasinga wa kuweebwa obukadde bwa ssente za Uganda 50, owookubiri 30 n’owookusatu 20. Ate abalala musanvu bagabane obukadde 50 nga bussibwa mu kukyusa enkola naddala tekinologiya ku ffaamu aabwe ate bonna batwalibwe ku lugendo lw’okulambula n’okuyigira ku balimi n’abalunzi mu ggwanga lya Budaaki. Ssekitoleko agamba nti, kino kiraga nti, empaka z’Omulimi Asinga endowooza ya Bannayuganda ekyuse okuva ku kulowooza nti, obulimi n’obulunzi mulimu gw’abataasoma n’abalemereddwa ensi wabula omulimu ogusasula.
“Empaka z’Omulimi Asinga zaateekebwateekebwa mu ngeri ezifuula ez’eggwanga lyonna nga kino kiraze abantu bonna muUganda nti, obulimi n’obulunzi bizinensi erimu ssente eza ddala omuntu n’ateetaaga mulimu gwa ofiisi ogw’okumusasula omusaala gw’omwezi,” Ssekitooleko bw’agamba.
Josephat Byaruhanga okuva ku kitebe kya Budaaki mu Uganda agamba nti, abalimi n’abalunzi b’omwaka guno bafubye okulaba nga basitula omutindo okuli okukyusa endyo eri abalunda nga leero osisinkana omulunzi alina ente ezisoba mu 500 kyokka nga zimuwa amata okutuuka mu liita 20 okutwaliza awamu buli emu olunaku. “Waliwo okusitulwakw’omutindo gwa ffaamuokwetooloola eggwanga era ng’olaba nti, abalimi n’abalunzibakikola nga bizinensi kyokka alina okusoomoozebwa okw’enjawulo okwetaaga okukolebwako.
Olw’okuba abalimi n’abalunzi abasinga bali mu byalo, okumu ku kusoomooza kwe balina kwa nguudo embi ezikalubya eby’okutambuza bye baggya ku faamu zaabwe okubitwala ku katale, bbeeyi y’ebikozesebwam ekyukakyuka, ebikozesebwa eby’ebicupuli.
Waliwo omulunzi w’ente e Luweero akama liita z’amata ezisoba mu 3,000 buli lunaku kyokka nga talina masannyalaze era asaasaanya okusoba mu 100,000/- ku mafuta gokka buli lunaku okukozesa ekyuma ekigannyogoza,” Byaruhanga bw’agamba Polof. Ogenga agamba nti, ebibiina by’obwegassi bikyalina okusoomoozebwa ky’okufuna ssente ku magoba amatono, okufuna ebikozesebwa ebituufu ku bbeeyi entono, okufuna obutale obulungi n’enkwata ya ssente okutwaliza awamu. Abawanguzi b’empaka z’omwaka guno baakulangirirwa nga December 9, ku mukolo ogunaabeera ku kitebe kya
kkampuni ya Vision Group olwo batwalibwe e Budaaki omwaka ogujja okulambula n’okuyigira ku balimi n’abalunzi Abadaaki.