Ssentebe wa Express ayogezza ssente
Apr 30, 2021
SSENTEBE wa Express FC, Kiryowa Kiwanuka ayogezza ssente bw'alabiseeko ku mupiira nga ttiimu ye ekuba Onduparaka 2-0 e Wankulukuku n'abasaba ekikopo kya Stanbic Uganda Cup ne liigi.

NewVision Reporter
@NewVision
Ono bukya sizoni eno 2020/21 etandika abadde talabikangako ku mupiira gwonna nga ttiimu ye esamba wabula ku Lwokubiri bwe yalabiseeko e Wankulukuku yakutte mu nsawo n'aggyamu ddoola 1,000 (eza Uganda 3,650,000) ng'akasiimo olw'omutindo gwa Express sizoni eno era wano we yasinziiridde n'abasaba ekikopo kya Uganda Cup ne Liigi.
Ssentebe wa Express Kiryowa Kiwanuka ng''abala omusimbi, ku ddyo ye Wasswa Bbosa
"Mbadde mbabuze ku maaso okumala ebbanga naye tubadde ffenna mu mwoyo naye mwebale olw'omutindo omulungi era nsaba sizoni eno twekubeko enfuufu waakiri n'ekikopo kya Stanbic Uganda Cup oba ekya liigi kuba byonna bisoboka," Kiwanuka bwe yategeezezza.Ssentebe wa Express Kiryowa Kiwanuka ku ddyo ng'akwasa Eric Kambale ekirabo ky'obuzannyi w'olunaku
Obuwanguzi bwa Express bwaginywerezza mu kifo ekyokusatu n'obubonero 43 emabega wa SC Vipers(46) ne URA FC (47). Ezzaako kukyaza URA FC ku Lwomukaaga lwa wiiki eno mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup oluzannya olusooka.Ssentebe wa Express Kiryowa Kiwanuka ng'awuubira ku bawagizi
No Comment