Omuddo guno gusibuka mu ggwanga Mexico n’amasekkati ga Amerika ate nga mu Uganda kisangibwa mu disitulikiti za Uganda zonna era nga bwotambula ku nguudo tosobola butakisanga ku mabbali gaazo.
Kino kirina emigaso egy’enjawulo omuli okukolebwamu emmere y’ensolo n’enkoko, ekijimusa, eddagala, eddagala ly’ebiwuka.
Omuddo guno gusibuka mu ggwanga Mexico n’amasekkati ga Amerika ate nga mu Uganda kisangibwa mu disitulikiti za Uganda zonna era nga bwotambula ku nguudo tosobola butakisanga ku mabbali gaazo. Kino kirina emigaso egy’enjawulo omuli okukolebwamu emmere y’ensolo n’enkoko, ekijimusa, eddagala, eddagala ly’ebiwuka. Okukola sayiregi mu kimyula Tema obuti obuto n’ebikoola ebikuze ngokozesa akambe akasala ng’osala okuva waggulu okutuusa wakati w’ekirime nga kimulisizza oktuuka ku bitundu 80 ku 100. Temaatema ebikoola n’obuti mu butindu obutono ddala mu buwanvu bwa 3cm olwo obuwotose mu kasana okumala essaawa nnya. Tabikamu sukaali ggulu atabuddwamu amazzi mu bipimo bya 1 (sukaaliggulu) ku 2 (mazzi) okugeza liita za sukaaliggulu 1, liita za mazzi bbiri. Ono ayambako okuggya obulungi okukola sayiregi. Pakira mu biveera oba kontayina osibe bulungi ddala okakase nga temuyingira mpewo yonna olwo obitereke mu kifo ekirungi webitaafunire buzibu gamba okuyulika. Okutabula oba okufuna sayiregi omutuufu kitwala ennaku 21-30. Wano ekimyula kibeera kituuse okuweebwa ensolo okwongereza ku kiriisa ekizimba omubiri.
Okukola sayiregi mu kimyula

Omulunzi ng'akola omuddo okuva mu kimyula

Peretisi ezikoleddwa mu kimyula