Sol Campbell atunuuliddwa okulya obutendesi bwa Bungereza ey’abato
May 05, 2021
EYALI omuzibizi wa Arsenal, Sol Campbell y’omu ku batunuulidde okulya ogw’omulimu gw’okutendeka ttiimu ya Bungereza ey’abatasussa myaka 21.

NewVision Reporter
@NewVision
Ekifo kino kibaddemu Aidy Boothroyd kyokka endagaano ye teyazzibwa buggya oluvannyuma lwa ttiimu eno okuvumbeera mu mpaka za Euro ez’abatasussa myaka 21 omwaka guno.
Campbell, bamulaba ng’asobola okuzza ttiimu eno ku mutindo oluvannyuma lw’okuba nga yamazeeko koosi z’obutendesi zonna era tewali kimulobera kutendeka ttiimu.
Wabula omulimu guno Campbell si yaakugutunuulidde yekka wabula Justin Cochrane ne Liam Rosenior eyaliko omuzannyi wa Fulham ne Hull City nga mu kiseera kino mumyuka wa mutendesi wa Derby County.
Abatunuulizi bagamba nti Campbell, ebbanga lye yamala mu ttiimu ennene nga Arsenal ne Spurs, bijja kumuyamba okufuna buli kimu ekyetaagisa okufuuka omutendesi alera abazannyi abato.
Campbell yatendekako Southend ne Macclesfield ssaako okukola nga omuyambi wa Bothroyd mu y’abatasussa myaka 21 mu 2018.
No Comment