Keefa Kisala ali ku puleesa

May 10, 2021

PULEESA n’obunkenke mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League eddamu okutojjera enkya ku lw’okubiri nga UPDF ekyaza MYDA e Bombo. 

NewVision Reporter
@NewVision

Enkya mu liigi ya Startimes Premier League

Bright Stars-Mbarara City 10:00

Busoga-Wakiso Giants 10:00 

Onduparaka FC-SC Villa FC  10:00

UPDF-Myda 10:00

Ensiike eno eriko obugoombe kuba UPDF ebadde yakakubwa Wakiso Giants ggoolo 5-1 eyagala buwanguzi bwokka okuddamu okuwa abawagizi baayo essanyu so nga yo MYDA eyakubwa Vipers 4-0 eyagala buwanguzi kutangaaza mikisa gyayo egy’okusigala mu liigi sizoni eno. 

UPDF singa ewangula ensiike eno, MYDA ejja kuba erangiriddwa ng'emu ku ttiimu ezisaliddwako sizoni eno kuba mu mipiira 22 erina obubonero 10. 

Kefa Kisala atendeka UPDF ali ku puleesa y’abawagizi oluvannyuma lw’okumala emipiira ebiri nga tawangula era ensiike eno agyetaaga nnyo okulaba ng’asenvula ku kikofo. 

UPDF ekwata kifo kya munaana n’obubonero 32 so nga yo MYDA y’emu ku zikwebedde ku kimeeza kya liigi. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});