Kambale wa express afuukidde Kyetume omuteego

May 13, 2021

OMUTEEBI wa Express FC mu liigi ya babinywera Eric Kambale ayogezza ekirimi bw’ateebye ggoolo 3 nga bakuba Kyetume (3-2) n’awera obutabaayo agenda kumuzikiza okutuusa nga sizoni awedde.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya GERALD KIKULWE

Mu liigi ya babinywera

Kyetume 2-3 Express

Kitara 2-2 Bul

Police 0-0 KCCA FC

Vipers SC 1-1 URA

Eggulo (Lwakusatu May 13, 2021) Kambale yafuukidde Kyetume omuteego ku kisaawe kya Nakisunga Ssaza bwe yabavudde wansi n’abakuba ggoolo ssatu.Kambale ye yabadde omuzannyi w'olunaku

Kambale ye yabadde omuzannyi w'olunaku

Kyetume ye yasoose okukulembera omuzannyo ng’eyita mu ggoolo ya Ezra Kizito Kaye mu kitundu ekisooka wabula Kambale yatabuse okuva mu ddakiika eye 15, 60 ne 66 nga Ezra Bidda tanafunira Kyetume ggoolo yaakubiri mu ddakiika eye 92.

Kambale agamba nti tamanyi naye engeri gy’abikola naye Katonda y’asinga okumanya era ky’ava ayongera okumwekwasa amukuumire ku mutindo gw’aliko.

“Omupiira guno gw’abadde muzibu nnyo okuwangula, Kyetume yabadde eremeddeko naye nange simanyi Katonda ngeri gye yankozesezzaamu okufuna ggoolo essatu era ndayira sigenda kuzikiza ate sisuubirayo agenda kunsirisa nga Katonda ali kulwange,” Kambale bwe yategeezezza.

Kambale ng'asanyukira ggoolo

Kambale ng'asanyukira ggoolo

Kambale eyalondeddwa ng’omuzannyi w’olunaku kati awezezza ggoolo 11 mu liigi emabega wa Samuel Ssekamatte owa Soltilo Bright Stars(12) ne Yunus Ssentamu owa Vipers SC akulembedde abateebi ne ggoolo 14.

Express yasigadde mu kifo ekyokusatu n’obubonero 49 emabega wa Vipers SC(50) ne URA FC abali ku ntikko n’obubonero 51.

Kyetume yakubiddwa omulundi ogw’ekkumi sizoni eno mu kifo ekye 14 n’obubonero 20 mu mipiira 23.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});