Kabonge afunye wiini esooka mu mipiira 8
May 17, 2021
OMUTENDSI wa Paidha Black Angels Allan Kabonge afunye wiini esooka mu mipiira 8 ne yeesomya okulaga amakulu g’erinnya lye eppaatiike erya ‘Messiah’ eritegeeza omununuzi.

NewVision Reporter
@NewVision
Mu Big League
Paidha 1-0 Maroons
Blacks Power 1-1 Arua Hill
Kigezi Home Boyz 1-1 Proline
Water 0-0 Tooro United
Nyamityobora 2-2 Ndejje University
Mbale Heroes 0-2 Gaddafi
Ku Ssande(May 15,2021), ekitundu ekyokubiri ekya sizoni ya Big League (2020/21) kyatandise n’emipiira 6 ku bisaawe eby’enjawulo. Paidha Black Angels ekwebedde mu kibinja kya Elgon yeegagganudde n’ekuba Maroons (1-0) mu lutalo lw’okulwanyisa obutasalwako.
Kabonge ttiimu za Big League ebbiri z’asembyeyo okutendeka okuli; Lira United FC ne Katwe United FC zaasalwako okuddayo mu ligyoni wabula ajjukirwa nnyo ng’asuumusa; Aurum Roses FC, Masavu FC, Onduparaka FC ne Paidha Black Angels ate n’okutendekako Kyetume FC mu liigi ya babinywera (2019/20).
Paidha (1)
“Ensi emmanyi ng’omununuzi w’omupiira, ekitundu ekisooka wiini z’agaana naye kati tusimbudde ky’ekiseera erinnya lyange okukola amakulu,” Kabonge bwe yeesomye.
Maroons etendekebwa Charles Ayekho nayo by’esiba bikutuka, mu mipiira 8 erinamu wiini bbiri, wabula ku 6 egisembyeyo, ekubiddwa 5 n’amaliri ga mulundi gumu.
Maroons mu kifo ekyo 7 ezzaako kukyaza Gaddafi ku Lwokuna (May 20,2021) ate Paidha ekyalira Mbale Heroes.
No Comment