Kajoba wa Vipers ne Bbosa wa Express bagoba kikopo kya liigi
May 17, 2021
OLUVANNYUMA lwa Express ne Vipers okuwangula emipiira gyayo egya wiikendi, enkya bakomawo mu nsiike ku lwokubiri mu liigi ya Startimes nga Vipers eyagala kwesasuliza Mbarara City kye yagikolera e Kakyeeka sso nga yo Express ekyalira Busoga e Jinja.

NewVision Reporter
@NewVision
Airtel Kitara-Myda
Onduparaka FC-Bright Stars
Wakiso Giants-BUL
Busoga-Express
Vipers-Mbarara City
Bano bombi balwanira ntikko ya liigi okulaba nga bawanulayo URA FC ekulembedde era buli mupiira ttiimu ziguzannya nga fayinolo kuba asuula yenna aba avudde ku kikopo.
Waswa Bbosa atendeka Express yagambye nti tebagenda kuzikiza kuba kye bagoba bakilaboka era bwe basumagirira ekikopo bakivaako.
“ Buli mupiira tuguzannya nga fayinolo kuba akulembedde atusiinga obubonero bubiri bwokka era tugenda kulwana masajja okulaba nga tumegga Busoga okulinnya ku ntikko ya liig olw’omutindo omulungi gwe tuliko,” Bbosa bwe yagambye.
Mu ngeri y’emu Fred Kajoba atendeka Vipers yaggye omupiira e Bombo oluvannyuma lwokumegga SC Villa 3-1 ku lwomukaaga n’awaga nga bwatannava ku kikopo wadde nga Mbarara y’emu ku ttiimu ezikalubirira Vipers okuwangula.
“Mbarara y’emu ku ttiimu ennungi saako n’omutendesi ow’erinnya Livinstone Mbabazi era ensiike eno tegenda kutuberera nnyangu wabula tugenda kwolesa obukodiyo bwonnna okulaba nga tunnyuka n’obubonero busatu.” Kajoba bwe yategezezza.
No Comment