Basibiridde Balimwezo ow'e Nakawa entanda
May 17, 2021
ABAKULEMBEZE b'eddiini basibiridde abadde mmeeya w'e Nakawa ying. Ronald Balimwezo entanda ng'agenda mu Palamenti.

NewVision Reporter
@NewVision
Bano nga bakulembeddwa Sheikh Isma Tomusange omwogezi wa ba Immam mu Nakawa, mu kusaba kw'okwebaza Katonda olwa Balimwezo okuwangula ekifo ky'omubaka owa Nakawa East mu Palamenti.
Sheikh Tomusange ng'ayogera
Sheikh Tomusanga amukuutidde obuteefuula kw'ebyo bye yasuubiza abalonzi. Sheikh Tomusange alabudde Balimwezo okwewala okugulirirwa olw'ebisawo bya ssente okutunda abantu.
Okusaba kuno kwetabiddwaako ebikonge nga bakulembeddwa Ssebwana atwala essaza ly'e Busiro Kiberu Kisiriiza, Mmeeya w'e Kawempe Emmanuel Sserunjogi, Mmeeya w'e Nakawa omulonde Paul Mugambe bakkansala abalonde n'abantu baabulijjo.
Abamu ku bagenyi abayite abaabaddeyo
Ying. Balimwezo yeebazizza Katonda olwa byonna by'amuyisizzamu wakati mu kusika omuguwa okusobola okuweereza abantu b'e Nakawa n'ategeeza nti waakusigala nga aweereza mu bwesimbu.
Ying. Balimwezo ng'ayogera
No Comment